Kitatta ne Ssentaayi abanene b’e Lwengo bafa ki?

OBUTAKKAANYA bwa ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo, Ibrahim Kitatta, n’omubaka Muhammad Muyanja Ssentaayi (Bukoto West) butuuse ku ntikko ne beesika ebitogi n’okwesindika mu maaso ga minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda.

Kitatta ne Sentaayi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBUTAKKAANYA bwa ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo, Ibrahim Kitatta, n’omubaka Muhammad Muyanja Ssentaayi (Bukoto West) butuuse ku ntikko ne beesika ebitogi n’okwesindika mu maaso ga minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda.

Baabadde ku mikolo gw’okuggulawo ebizimbe by’amasomero ebyazimbiddwa eggye lya UPDF era Minisita Kabanda olwabadde okutuuka ku St. Baptist Malongo P/S, ababiri baayagadde okulaga eryanyi mu kumwaniriza, kyokka Kitatta n’alabika ng’olutalo aluwangudde n’atambuza minisita ng’amwanjulira abaabaddewo.
Bwe baatuuse ku Lusaka P/S bazzeemu okweraga eryanyi mu kusala akaguwa ne beesindika n’okwesika ebitogi era minisita Kabanda kata agwe nga yeewoma ehhuumi. “Ekimala kimala, Kitatta ansojjezza ebbanga nga mmusiriikirira era bwe nalabye ng’annumbye mu maaso ga minisita Kabanda ne hhamba ye ssaawa akomye ejjoogo,” Ssentaayi bwe yategeezezza.
Ate Kitatta yategeezezza nga Ssentaayi bw’asussizza okuzannya ebyobufuzi eby’ekito. Yagambye nti byonna ne bw’anaabikola tewali kigenda kumulemesa kwesimba ku bubaka bwa Bukoto West mu 2026.

Kitatta yagambye nti bwe baabadde ku ssomero e Malongo, yayanirizza minisita nga akulira disitulikiti era n’amwanjulira n’abakulembeze bonna abaabaddewo okuli ne Ssentaayi gw’agamba nti minisita Kabanda yabadde tamumanyi.
Kitatta ne Ssentaayi si gwe gusoose okwambalagana mu lujjudde. Gye buvuddeko Pulezidenti w’eggwanga bwe yabadde aggulawo eddwaaliro e Lwengo, Ibrahim Kitatta baamummye akazindaalo okutuusa Gen. Proscovia Nalweyiso bwe yalagidde Kitatta abeeko ky’abuulira Pulezidenti.