Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among Magogo aweze nga bwatayinza kukkiriza bufumbo bw’ekikula kimu mu ggwanga era neyebaza ababaka ba palamenti okwali Muyanja Ssentaayi ne Isaac Mayanja abaakisimbira ekkuuli ekiteeso kino.
Okwogera bino asinzidde mu kutongoza ekibiina ky’omubaka wa Bukoto West Muyanja Muhamad Ssentaayi ,ekya Ssentaayi Foundation mu tawuni kanso ye Katovu disitulikiti ye Lwengo.
Tent 40,emmotoka 10 okuli Ambulance,Kosita,n’ebirala byebiwereddwaayo omubaka Ssentaayi.
Sipiika Among asoose kugumya bannalwengo ku ky’omubaka waabwe Cissy Namujju eyakwatibwa ku misango egy’obulyake n’enguzi n'abagamba nti ali mu mbeera nnungi era budde bwonna wakuvaayo
Anita Among ng'ali e Lwengo
Agambye nti kireme kuwawaalira mu matu g'abantu nti Namujju mubbi n'agamba nti omukulembeze w’eggwanga yamukwata kumukangavvula ng’ataata bwakangavvula omwana we.
Asabye ssentebe wa disitulikiti Ibrahim Kitatta agumire ku kyaliko era ney eyama okumukwasizaako mu kunoonya akalulu ka 2026.
Afukamidde n'asaba bannalwengo okuzaayo omubaka Namujju ne Ssentaayi mu Palamenti basobole okwongera okubakulakulanya.
Among akubiriza abantu okwennyigira ennyo munteekateeka za Gavumenti nga PDM ne MYOOGA era nalagira ssentebe Kitatta okufuba okulaba nga ensimbi zikola emirimu gyagyo.
Ono agudewo ekibiina kino nasaamu obukadde 50 obumuwereddwa okuva mu ofiisi ya Pulezidenti nabo ne bamutonera ebirabo.
Ababaka ba palamenti abasobye 30 okubadde Secretary Genal David Kabanda ono abagumiza nga Namujju bwagenda okuva mu nkomyo.
Muganda wa Museveni Toyota Ndugu ono yebazizza ssentaayi okwagala PLU era nakakasa bannalwengo obutawudiisibwa ku PLU ne NRM byagambye nti byaluganda.
Minisita Kasoro asabye bannalwengo okuvaamu omuyaga gw’ebyobufuzi bazzeeyo omubaka Ssentaayi asobole okubakulakulanya.
Omubaka Sentaayi agambye nti okuwaayo ebintu bino ayagadde biyambe nnyo kumuntu wawansi atalina busobozi bwakubyetusaako naye asobole okweyagalira mu lwengo.
Abatuuze basiimye ettu eribawereddwaera ne basaba gavumenti eyimbule omubaka.
Obukadde obusoba mu 100 bwebusonddwa..