REV DR Keefa Ssempangi asabye abantu okukomya okweraliikirira kuba kye kimu ku bisinze okuleetera abantu okufa n’okufuna ebirwadde ebyenjawulo n’asaba n’abantu obutasosola baana bataliiko mwasirizi Ssempangi yasinzidde mu kuziika Bosco Mawagali 52 abadde omutuuze w’e Mukono ewa Ntoni nga y’omu ku baana be yalabirira mu biseera we yayambira abaana abataliiko mwasirizi ng’abamu yabaggyanga ku nguudo.
Mawagali yafiiridde mu ddwaliro ly’e Kiruddu oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde bw’ekibumba okumala ebbanga.
Rev Dr Ssempangi ye yasabidde omwoyo gw’omugenzi ne yennyamira olw’abantu ensangi zabafuna obuzibu bw’okulowooza ennyo ne bafundikira nga bafunye ebirwadde ebiva ku kweraliikirira n’asaba abantu okubaako ensonga ezimu ze beesonyiwa wabula bwe babeera n’ebibasoomooza beekwate Katonda kuba tewali kizibu kimulema.
Mawagali yaziikiddwa ku kyalo Kyengezza mu ggombolola ye Masuliita mu Disitulikiti
y’e Wakiso ng’omugenzi yalese nnamwandu n’abaana basatu.