Amawulire

Minisita Lugoloobi aggyiddwaako emisango gy’okwezza amabaati

OMUWAABI w’emisango gya Gavumenti aggye emisango ku minisita omubeezi owebyensimbi, Amos Lugoloobi gy’abadde awerennemb agyo, n’assa ekikkowe.Minisita Lugoloobi abadde avunaanibwa omusango gy’okusangibwa n’amabaati amabbe agaali ag’e Karamoja.

Minisita Amos Lugolobi (owookubiri ku kkono) ng’ali mu kkooti e Wandegeya.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUWAABI w’emisango gya Gavumenti aggye emisango ku minisita omubeezi owebyensimbi, Amos Lugoloobi gy’abadde awerennemb agyo, n’assa ekikkowe.
Minisita Lugoloobi abadde avunaanibwa omusango gy’okusangibwa n’amabaati amabbe agaali ag’e Karamoja.
Eggulo ku Lwokubiri, Lugoloobi yabadde azze okwongera okwewozaako ku musango guno, kyokka olwatuuse mu kkooti, Omulamuzi Jane Kajuga owa kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abali b’enguzi n’ategeeza nga bw’asazizzaamu okwongera okuwozesa Lugoloobi ku musango ogwamuggulwako kubanga oludda oluwaabi lwabadde lumuggyeeko omusango guno.
Yagambye nti ennyingo 120 eya Ssemateeka ewa Ssaabawaabi wa gavumenti obuyinza okusalawo obutagenda mu maaso na kuwozesa musango gwonna bwekityo
engeri gye yaggye omusango guno ku Lugoloobi bwatyo naye yasazeewo okusazaamu okumuwozesa.
Yalagidde ssente z’akakalu ka kkooti, ebyapa oba ebintu byonna bye yawaayo okumuyimbula ku kakalu ka kkooti okumuddizibwa. Era n’abantu be yaleeta okumweyimirira obuvunaanyizibwa obwabateerebwako nabwo kkooti yabubaggyeeko.
Lugoloobi abadde amaze emyaka ebiri ng’abbinkana n’omusango guno era ng’oludda
oluwaabi lubadde lwamala dda okuleeta obujulizi n’abajulizi abalumiriza Lugoloobi okwenyigira mu musango ogw’okusangibwa n’amabaati amabbe.
Omulamuzi Kajuga yali yawa dda ensala ye nga Lugoloobi alina okwewozaako era mu
lutuula lwa kkooti olwasembayo nga October,12, 2025 Lugoloobi yeewozaako ku musango guno ne yeegaana okugyetabamu era olunaku lw’eggulo yabadde alina okwongera okuleeta abantu abamuwolereza kyokka omusango guno ne gumuggyibwako.
Kino kyamusanyudde nnyo era n’agamba nga bwe yali yafuna amabaati gano ng’ayita
mu makubo amatuufu, era okuva bwe yaggulwako omusango guno mu June, 2023 ayise mu kunyigirizibwa kungi nga ne Visa ye eya America yali baagisazaamu ate nga yalina emirimu mingi gye yali alina okukola ne kitongole ky’ensi yonna ekya United Nations.
Yeebaziza Ssaabawaabi wa gavumenti okuzuula ekituufu n’amuggyako omusango bwe
yasazeewo nti teyabba mabaati era kino abamuvuganya babadde bakikozesa mu kampeyini ezigenda mu maaso. Okusibwa kwe mu kkomera mu 2023 Lugoloobi yagambye kyamuyamba okumanya embeera embi eri mu makomera.

Tags: