OLUVANNYUMA lwa Bukedde okuwandiika emboozi ku basuubuzi b’akatale k’e Mengo nga beemulugunya ku mbeera gye bakoleramu eteeyagaza, bagamba nti ate baaluggulira ku ppata olw’embeera okwongera okusajjuka.
Omusasi yazzeeyo n’abalambulako kyokka ne bongera okusinda ennaku abamu ne bagaana n’okulabikira mu kkamera zaffe nga bajjukidde ekyabatuukako omulundi ogwayita nga balabikidde mu mawulire.
Bano bagamba bakooye okubatiisa olw’okwogera ebibaluma nga baagala wabeewo ekikolebwa nga tebanneesuulamu jjulume! Grace Namugenyi omu ku bakazi abafumba emmere mu Katale kano yategeezezza nti nkeera nga Bukedde afulumye, abasajja bajja ba KCCA nga baliko n’obumansuka era ku olwo buli gwe baasanga ku mudaala gwe,
baamulagira okusasula omutwalo buli omu era ne beekubaakuba okusasula newankubadde baali tebannakolayo wadde eky’ekkumi.
Ono agamba nti zino baabagamba nti za kwerula mwala gwe beemulungunyaako. Yagambye nti baatuuka n’okubalessa bye bafumba mbu ne babatwala okubalambuza
wabweru embeera nga bweri ky’agamba nti si buvunaanyizibwa bwabwe obw’okwerula emyala.
Yeewunya nti basasula empooza ya buli mwezi nti ate zino zaali zaaki bwe kiba nga tebaakikozesa busungu bwa kwemulugunyaako.
Yagambye nti bawanjaze okumala ekiseera nti waakiri baalituuzizzaayo olukiiko nabo ne bateeka ensonga zaabwe ezibaluma ku mmeeza naye nakyo tekikolebwangako.
Prossy Namatovu nga naye mufumbi, yagambye nti kati batya okwogerako kuba buli avaayo n’ayogera afuuka nkoko njeru...
Yategeezezza nti, baatuuka n’okubongeza empooza okuva ku mitwalo 25,000 okutuuka ku 30,000 buli mwezi naye mpaawo nkyukakyuka gye balaba ekoleddwa mu katale kaabwe kuba n’ebisenge mwe bakolera bitonnya ng’enkuba etonnye.
Sumin Ssonko yagambye nti ekisinga okubaluma beebo abafumbira wabweru w’akatale mu budde bw’emisana kyokka nga baali balagaanye nti bateekeddwa kugendayo kawungeezi kokka.
Yawanjaze nti kino tebakifunyemu wadde akatono kuba bbo tebakyakola babeera mu kufiirizibwa olw’okuba bakaasitoma bakoma wabweru tebakyayingira mu Katale munda gye baalyanga eky’emisana.
Baagala biddemu nga bwe byali okuva edda ate n’emidaala mu katale gikyalimu ne basaba be kikwatako okukitunulamu amangu ddala.
Ssonko yagambye nti n’abadde agezaako okuboogerera ssentebe waabwe Benon Kalema kati ayuuzibwa abantu b’atamanyi nge woofisi gye babadde bamusanga okwemulugunya takyalimu.Ssentebe w’abasuubuzi bano Kalema yategeezezza nti naye agezaako ky’asobola kuba bangi bazze nga bamuwanjagalira ennaku yaabwe buli kiseera naye mpaawo ky’asobola kukola. Yasabye be kikwatako okuvaayo okuyamba ku basuubuzi n’okwemulugunya kwabwe. Ono agamba nti