GAVUMENTI efulumizza enteekateeka y’okuwa abakozi emirimu egiri eyo mu 7,500 ng’omwaka guno tegunnaggwaako. Emirimu gino giri ku disitulikiti, mu bitongole byayo, ne mu minisitule.
Emirimu egyakakasiddwa giri mu byenjigiriza, eby’obulamu, mu ssiga eddamuzi, mu liisi, mu kitongole ky’amakomera, u disitulikiti, mu bibuga, mu magye, n’ebitongole
by’ebyokwerinda ebirala.
Minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti, Muruli Mukasa, yagambye nti ebitongole n’obukiiko obugaba emirimu byatandise dda okuyisa ebirango mu mawulire, n’asaba abaagala okwegatta ku kukolera gavumenti okuteekamu okusaba kwabwe, ng’ebirango bwe birambika.
Mukasa era yagambye nti emirimu gya gavumenti gya bwereere, teri kusasula wadde ekikumi, era omuntu yenna anaakusaba ssente, muwaabire mu bitongole okuli ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwa Pulezidenti, poliisi enoonyereza ku buzzi
bw’emisango, Kaliisoliiso wa gavumenti, n’ebitongole ebirala.
Mukasa era yannyonnyodde nti emirimu gino egimu giri mu malwaliro, naddala agaasuumusibwa okuva ku mutendera gw’omuluka (Health Centre II) ne gadda ku
mutendera gw’eggombolola (Health Centre III). Amalwaliro gano gali 12, nga gali mu disitulikiti 12 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ate ebitongole bya gavumenti, minisitule ne gavumenti ez’ebitundu, baakuwandiika abakozi 6,853, okusobola okunyweza omulimu gw’okussa mu nkola enteekateeka za gavumenti, n’okulondoola emirimu egikolebwa, okwewala okufiirizibwa ssente z’omuwi w’omusolo, okuyita mu bubbi n’okukola emirimu gadibe ngalye.
Abakozi abalala bagenda kuba basomesa ba pulayimale, ab’ebyobulamu ebitandikirwako, abalimisa, n’abaami b’emiruka. Wabula Mukasa yagambye nti wadde gavumenti yalagira dda ebitongole ebikwatibwako okuwaayo ebifo by’abakozi be eetaaga, okusobola okutandika omulimu gw’okuwandiika abakozi,
bangi babadde tebannaba kkituukiriza, n’asaba ebitongole ebitannaba kutandika kuwandiika bakozi okwanguwako okukikola, emirimu gya gavumenti gireme kuzing’ama.
Obukiiko obugaba emirimu Mukasa yabulagidde okuwandiika abakozi mu ngeri ey’obwerufu okwewala obuli bwenguzi, era abasunsula tebalina kwogera butereevu ku masimu n’abo abasaba emirimu, okwewala ebikemo by’okulya enguzi. UPDF
Eggye lya UPDF nalyo lyalangiridde nti ligenda kuwandiisa abaserikale ba LDU 600 mu disitulikiti eziri mu bitundu bya Rwenzori abalumbaganyi abava e Congo gye babadde batandiise okweriisa enkuuli.
Mu kiwandiiko ekyateereddwaako omukono gw’omwogezi wa UPDF, Maj. Gen. Felix
Kulayigye baatandise okuwandiika abaserikale bano nga November 10, 2025 mu bitundu bya Rwezori okuli disitulikiti y’e Kamwenge, Kabarole, Bunyangabo, Kasese,
Bundibugyo ne Ntoroko. Kulayigye yagambye nti omuntu yenna agenda okuwandiisibwa okuyingira mu ggye lino ateekwa okubeera nga mwana nzaalwa ya mu Uganda, ateekwa okuba nga mulamu bulungi era nga mwetegefu okwekebejjebwa abasawo ba UPDF. Buli agenda okwegatta ku ggye lino oba mukazi oba musajja ateekwa okubeera ng’ali wakati w’emyaka 18 ne 25. Mu ngeri y’emu ateekwa okubeera ng’alina obuyigirize obutasukka S.4 oba ebiwandiiko ebyenkanankana obuyigirize bwa
S.4. Ebbaluwa esaba okuyingira eggye lino eteekwa okubeera nga ewandiikiddwa mu mukono gwe, nga ekakasiddwa n’omukono gwa LC I, LC II ne LCIII gattako n’ogwa GISO ne DISO.