Amawulire

Alumirizza nnamwandu mu gwa Katanga

MBEGA wa poliisi, Bibiana Akongo eyakulemberamu okunoonyereza ku musango gw’okutta Henry Katanga (ku ddyo) agambye kkooti nga mu kisenge we yattirwa baasangawo endagaano y’okutunda kweyali atade omukono nga naye omugenzi tatadeko.

Alumirizza nnamwandu mu gwa Katanga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MBEGA wa poliisi, Bibiana Akongo eyakulemberamu okunoonyereza ku musango gw’okutta Henry Katanga (ku ddyo) agambye kkooti nga mu kisenge we yattirwa baasangawo endagaano y’okutunda kweyali atade omukono nga naye omugenzi tatadeko.
Baateebereza nti omugenzi okugaana okussa omukono ku ndagaano kye kyamuviirako okuttibwa. Akongo nga ye yali akulira abanoonyereza ku misango ku poliisi ya Jinja Road okwogera bino yabadde attaanya ku bujulizi bw’azze awa mu kkooti eno ku bye baazuula ku musango gw’okutta Katanga, obwedda alambikibwa omuwaabi wa gavumenti Samalie Wakooli.
Okuwulira omusango gw’okutta Katanga oguvunaanibwa mukyala we
MBEGA wa poliisi, Bibiana Akongo eyakulemberamu okunoonyereza ku musango
gw’okutta Henry Katanga (ku ddyo) agambye kkooti nga mu kisenge we yattirwa baasangawo endagaano y’okutunda kweyali atade omukono nga naye omugenzi tatadeko.
Baateebereza nti omugenzi okugaana okussa omukono ku ndagaano kye kyamuviirako okuttibwa.
Akongo nga ye yali akulira abanoonyereza ku misango ku poliisi ya Jinja Road okwogera bino yabadde attaanya ku bujulizi bw’azze awa mu kkooti eno ku bye baazuula ku musango gw’okutta Katanga, obwedda alambikibwa omuwaabi wa gavumenti Samalie Wakooli.
Okuwulira omusango gw’okutta Katanga oguvunaanibwa mukyala we Molly Katanga ate bawala be bali ku gwa kugezaako kubuzaawo bujulizi nga kuliko Patricia Kankwanzi, Martha Nkwanzi ate omusawo Charles Otai ne George Amanyire. Kigambibwa bayambako okusaanyawo obujulizi nga guli mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu, Rosette Comfort Kania.
Akongo yategeezezza nti mu kisenge ky’omugenzi kye yali asulamu ne mukazi we
waliwo emmeeza nga basangako ekiwandiiko ky’okutunda nga kiteekeddwako omukono
gw’omuwawaabirwa Molly Katanga wabula ng’omugenzi tataddeko
mukono. Mu kwongera okuttaanya obujulizi bwe era Akongo yawakanyizza
ebigambibwa nti omugenzi ayinza okuba nga yeekuba amasasi nti okusinziira ku kunoonyereza n’obujulizi bwe baasanga mu kifo omugenzi we yafiira n’engeri gyeyalimu kiraga nti baamukuba bukubi amasasi.
Yabuulidde kkooti nti kituufu essasi erigambibwa okutta omugenzi Katanga yabula kubanga we baatuukira mu kifo Katanga we yafiira, baasanga bali mu kuyonjaawo nga n’amasasi gaggyiddwawo nga gateekeddwa ku buliri.
Ono era yawakanyizza ebya banamateeka b’abawawaabirwa nti yabba ensawo eyalimu ssente gye yasanga mu maka g’omugenzi bw’ategeezezza nti nsawo yatwalibwa muwala wa Molly Katanga ayitibwa Martha era nti yakuba n’ekifaananyi nga kikolebwa. Gukyagenda mu maaso.olly Katanga ate bawala be bali ku gwa kugezaako kubuzaawo bujulizi nga kuliko Patricia Kankwanzi, Martha Nkwanzi ate omusawo Charles Otai ne
George Amanyire. Kigambibwa bayambako okusaanyawo obujulizi nga guli mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu, Rosette Comfort Kania.
Akongo yategeezezza nti mu kisenge ky’omugenzi kye yali asulamu ne mukazi we
waliwo emmeeza nga basangako ekiwandiiko ky’okutunda nga kiteekeddwako omukono
gw’omuwawaabirwa Molly Katanga wabula ng’omugenzi tataddeko mukono. Mu kwongera okuttaanya obujulizi bwe era Akongo yawakanyizza ebigambibwa nti omugenzi ayinza okuba nga yeekuba amasasi nti okusinziira ku kunoonyereza n’obujulizi bwe baasanga mu kifo omugenzi we yafiira n’engeri gyeyalimu kiraga nti baamukuba bukubi amasasi.
Yabuulidde kkooti nti kituufu essasi erigambibwa okutta omugenzi Katanga lyabula kubanga we baatuukira mu kifo Katanga we yafiira, baasanga bali mu uyonjaawo nga n’amasasi gaggyiddwawo nga gateekeddwa ku buliri. Ono era yawakanyizza ebya banamateeka b’abawawaabirwa nti yabba ensawo eyalimu ssente gye yasanga mu maka g’omugenzi bw’ategeezezza nti ensawo yatwalibwa muwala wa Molly Katanga ayitibwa Martha era nti yakuba n’ekifaananyi nga kikolebwa. Gukyagenda mu maaso.

Tags: