OMUSIRIKALE w’amakomera aleese ensasagge bw’akolokoze ekitongole ky’amakomera mw’akolera n’azingiramu ne bakama be. Lawrence Ampe akolera mu kkomera lya Uganda Prisons Ngora mu disitulikiti y’e Ngora mu Teso, yatadde akatambi ku tik tok n’omukutu gwe ogwa twitter ng’agamba nti embeera gye balimu mbi.
Yeemulugunyizza ku mbeera y’abaana ba baserikale banne mwe basomera nti kizibu na kya kumalako siniya eyomukaaga eemulugunyizza ku ngeri gye babagabamu mu bitundu ku mirimu n’awa ekyokulabirako, engeri omuntu w’e Kisoro gye bamugaba
akolere e Gulu.
Agamba nti bakama baabwe e Ngora bayisa bubi abaserikale aba wansi n’asaba ensonga zitunulwemu.
Bino omwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine olwamugudde mu matu, yavuddeyo n’alagira Ampe ne banne abalowooza okwasangulizanga ebirowoozo byabwe mu mawulire awatali lukusa bakikomye.
Yalabudde buli muserikale ku nkozesa ya ssimu embi ku mikutu gya social media naddala ogwa tik tok.
Ekitongole ky’ebyamakomera kyayisizza n’ekiwandiiko nga kikakasa nti, Ampe omutuufu gwe bakozesa, ye yayogedde ebyo ne kirabula nti kimenya mateeka
omukozi wa Gavumenti okwogera mu mawulire nga takkiriziddwa bakama be.
Baine yagasseeko nti Ampe agenda kuyitibwa ku kitebe ky’ebyamakomera mu kakiiko
akakwasisa empisa, abeeko by’annyonnyola kubanga ekitongole ekyo si bwe kitambuza
emirimu gyakyo.
Wadde yagambye nti si y’asalirawo ekitongole era tamanyi kigenda kusalibwawo ku ofiisa munne eyateeredde ekitongole kaka, asuubira nti ebbanga lye mu kitongole ekyo likendedde. Ampe yazzeeyo ate ku mukutu n’annyonnyola nti, bwe yamaze okuwa ebirowoozo bye ku nsonga ezo, abamu ku bakamabe baatudde ne basalawo ekiddako eri ye naye ate ne kitwalibwa nga kya kyama gy’ali. Mu katambi akalala yabadde asaba bamubuulire ekiddako ng’ali ng’eyeekyaye ekijja kijje.
Yeweze nti wadde yasabiddwa okwekomako, tajja kukikola okutuusa nga bye yabadde ayogerako bitereezeddwa.