Ssekikubo asabye emmotoka ya Palamenti okunoonya emikono 10 egibulayo

OMUBAKA Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) asabye sipiika wa palamenti Anita Among emmotoka ya palamenti okugenda mu konsitituwensi z’ababaka 10 ababulayo okuteeka emikono ku kiteeso ekigendereddwa okuggya obwesige mu ba kamisona ba palamenti abana olw’okwegabanya obuwumbi 1,700 awatali kugoberera mateeka.

Omubaka Ssekikubo (wakati) ng’alaga ebbaluwa gy’awandiikidde sipiika. Ku ddyo ye Alioni Odria (Aringa South).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUBAKA Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) asabye sipiika wa palamenti Anita Among emmotoka ya palamenti okugenda mu konsitituwensi z’ababaka 10 ababulayo okuteeka emikono ku kiteeso ekigendereddwa okuggya obwesige mu ba kamisona ba palamenti abana olw’okwegabanya obuwumbi 1,700 awatali kugoberera mateeka.
Bakamisona kuliko, Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe), Solomony Silwany ( Bukooli Central), Esther Afoyo Ochan (Mukazi/Zombo) ne Prossy Mbabazi (Mukazi Rubanda). Mu kusaba kwe yayisizza mu bbaluwa gye yawandiikidde ‘clerk’ wa palamenti, yategeezezza sipiika nga oluwummula lwe yawa palamenti bwe luli oluwanvu ekibakaluubirizza okuweza emikono 177 egyetaagisa ekiteeso okutuuka mu palamenti okuteesebwako.
Yagambye abaamawulire mu lukung’aana lwe yatuuzizza ku palamenti, nti ababaka bennyini be baamweyitidde okukima emikono olw’obuvunaanyizibwa mu bitundu byabwe obubamalawo obutabaganya kuseetuka mu budde buno.
Yagambye nti nga July 1, 2024 baakutandikira mu buvanjuba bw’eggwanga bafune  mikono gy’ababaka okuva mu disitulikiti y’e Iganga, Busia, Tororo, Mbale , Soroti ne Kaberamaido oluvannyuma bakyalire Kyabazinga wa Busoga, William Wilberforce Nadiope Gabula, IV ne bannaddiini okufuna emikisa. Bwe bava eyo baakutalaaga Mbarara, Ibanda, Bushenyi, Mitooma, Sheema, Bunyaruguru, singiro, Mbarara City, Fortportal, Kyegegwa, Kyenjojo, Kakumiro ne Kibaale