ABABAKA abanoonya emikono okuggya mu ba kamisona ba palamenti 4 obwesige balangiridde nti ensolo ku kizigo kweri , omukono kati ebula gumu ku 177 egyetaagisa okubasuuza ebifo.
Kiddiridde olunaku olwaleero okufuna emikono gya babaka emirala ena okuli ogwa Judith Alyek (Mukazi/Kole), Emmanuel Otala (West Budama ) Ronald Aled Akugizibwe(Buruli) ne Chemaswet Kisos (Kween).
Olunaku olw'enkya omubaka Sarah Opendi (Mukazi/Tororo) ne Joseph Gonzaga Ssewungu (Kalungu West) bakasizza ng’omukono ogumu bwe bagusuubira olwo entamu eyayalula kamisona Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe) Solomony Silwany ( Bukooli Central), Esther Afoyo Ochan (Mukazi/Zombo) ne Prossy Mbabazi (Mukazi Rubanda) esiriire.
Ssewungu n’omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) eyawoma omutwe mu kiteeso kino beyamye okuwolereza abavubuka bonna abakwatiddwa ku Lwokubiri nga bawakanya enguzi esusse ku palamenti nti kubanga babakwatidde bwemage.