KYADDAAKI omubaka Mohammed Ssegirinya bukyanga ayimbulwa ku kakalu kkooti alabiseeko mu kkooti e Kololo okuwulira emisango gy’obutemu bw’e Masaka n’obutujju egyabaggulwako.
Ate ye omubaka Allan Ssewanyana bwe bali ku misango gino teyalabiseeko bannamateeka be ne bagamba nti, baamugaanye okujja ng’embeera ye ekyali mbi yeetaaga okujjanjaba. Kigambibwa nti, yabadde amaze okussibwa ku katanda ka ambyulensi kyokka nga munafu nnyo bannamateeka be ne bamuwa amagezi aleme kugenda mu kkooti.
Ssegirinya ku kkooti yategeezezza nga naye bw’akyali mu mbeera embi era yeetaaga obujjanjabi obwamaanyi era wano we yabikkulidde omukono n’omugongo n’alaga ekirwadde ekimukubye omubiri gwonna ekirabika nga wayirindi kye yagambye nti kikyagaanyi eddagala lyonna lye bazze bamussaako n’okumukuba empiso.
Yagambye nti ekirwadde kino yakifinidde mu kkomera gy’amazde ebbanga erikunukkiriza mu myaka ebiri.
Ababaka bano Ssewanyana ne Ssegirinya ne bannaabwe abalala bwe bali ku misango gino okuli; Jackson Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala ne Mike Sserwadda baabade balina okulabikako mu Kkooti Enkulu e Kololo ewozesa emisango egiri ku mutendera gwe nsi yonna mu nteekateeka gye baliko ku ngeri gye bagenda okuwozesebwamu.
Emisango gino giri mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi era olusomye fayiro yaagwo abavunaanibwa bonna baabaddewo okuggyako Ssewanyana era Samuel Muyizzi Mulinda omu ku bannamateeka baabwe n’ategeeza kkooti nga bwe batasobola kugenda mu maaso na kuwulira musango guno kubanga omubaka ono taliiwo.
Ategeezezza nti Ssewanyana tajeemedde kkooti era ng’abadde ajja mu kkooti nga bamuleetera mu ambyulensi ng’ali ku katanda k’abalwadde wabula bo nga banamateekaabe ne bamugaana kubanga embeera gy’alimu ebadde temusobozesa kubeera mu kkooti ng’akyali mulwadde.
Ayongedde n’agamba nti baagenze ew’omuwandiisi wa kkooti eno bamusabe akkirize Ssewanyana aweebwe ppaasipooti ye agende ajanjabibwe mu ddwaaliro ly’e Nairobi nga kkooti y’e Masaka bwe yalagira afune obujjanjabi obwenjawulo.
Muyizzi era agambye kkooti nti omu ku bannamateeka Geofrey Turyamusiima bw’ataabadde mu kkooti kubanga yabadde mu kuziika munnamateeka munne, Anthony Wameri, nga naye abadde omu ku bannamateeka abawolereza abawawaabirwa nga n’olw’ensonga eyo babadde tebasobola kugenda mu maaso n’akuwulira misango gino.
Munnamateeka omulala Robert Muhereza n’oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Richard Birivumbuka tebaawakanyizza kusaba kwa Muyizzi kubanga ensongay’obulamu nkulu nnyo era tebaagala kulabika ng’abatulugunya abawawaabirwa basabye emisango gino gyongerweeyo mu wiik ssatu wadde nga Muyizzi abadde asabye mwezi gumu. Omulamuzi Komuhangi ayongedeeyo okuwulira emisango gino okutuusa nga March 27, 2023.
Muyizzi agambye okusaba okwongerayo omusango guno tebeewala kkooti wabula Ssegirinya ne Ssewanyana bakyali balwadde era nabo bakimanyi tewali bujulizi bubaluma mu misango gino egyabaggulwako.