ABAVUZI ba bodaboda ababadde batasalikako musale, bakakkanye ku musajja agambibwa okuba omubbi wa pikipiki ne bamukuba ne bamutta.
Attiddwa ye Andrew Muteesa omutuuze w'e Nkiro e Kaliro mu disitulikiti y'e Lyantonde bwe bafumbikiririzza e Magamaga mu Ggombolola y'e Mbogwe mu disituliti y'e Mayuge, ne bamukuba ne bamutta , n'oluvannyuma ne baggyawo pikipiki ne babulawo emisana ttuku.
Kigambibwa nti omusajja ono, yasoose kubba boda boda wakati mu kulumya Kiyimba agambibwa nti yamukubye ennyondo ku mutwe e Lugolole nti n'abulawo ne pikipiki ng'ayitira e Musiita ku Mulungirire rd.
Kyategeezeddwa nti bamugoberedde ne bamugwikiriza e Magamaga ne bamukuba ne bamutta. Ye gwe bakubye ennyondo, kigambibwa nti ali mu kujanjabibwa mu ddwaaliro e Musita.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo , agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mayuge ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.