SSABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere avumiridde obuluvu obubaluseewo ensangi zino mu baana ne bubatuusa n’okwagala bakadde baabwe bafe mangu bbo beddize ebintu byaabwe.
Bino abyogeredde mu mmisa gyayimbidde mu Lutikko e Lubaga okwebaza Katonda olw’emirimu emirungi egikoleddwa Omugenzi Tofiri Kivumbi Malokweza era neyeebaza abaana b’omugenzi olw’okumulabirira obulungi okutuusa Katonda lwamuyise.
Abakungubazi nga bateeka ekimuli ku kkeesi y'omugenzi
“Mu mulembe gwaffe guno mutandise okubeeramu omuzze ogw’obulunvu, wotuukira okugamba nti katutte kitaffe, tutwale ebintu olaba obuluvu obw’enjawulo. Kaneebaze abaana nga bano nemugamba nti Taata katumulinde emyaka gye gyonna gigweeyo naye ng’agenze bulungi nga Katonda yamututte nga si ffe abamuggyewo,” Ssabasumba Ssemogerere bweyebazizza abaana.
Mu bubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwatisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda olukulu, Patrick Mugumbule n’ategeeza nti omugenzi awereeza Kabaka we n’Obwakabaka n’omutima gumu ng’eno y’ensonga lwaki afudde Kabaka yasiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo erisiima obuwereeza bwe.
Ku lwa Nnamwandu Ruth Ndagire, mukwano gwe Cotlida Wamala yeyayogedde n’eyeebaza Obwakabaka, Klezia wamu n’emikwano gy’omugenzi olw’okubeera naye mu kiseera kino eky’okusomoozebwa bwatyo n’asaba basigale nga bali bonna.
Lord Mayor Ssaalongo Erias Lukwago ng'ateeka ekimuli ku mufu
Joe Malokweza yeyayogedde ku lw’abaana ng’ono yateegezezza ng’engatto za kitaabwe bweziri ennene kyokka bagenda kufuba okutambulira mu buufu bwe kyokka n’asaba abakulu omugenzi baabadde akola nabo mu Bwakabaka ne Klezia, okusigala nga babalungamya.
Ye Bwannamukulu w’ekigo kya St. Kizito e Bwaise, Msgr. John Baptist Ssebayigga alambuludde emirimu egy’enjawulo egikoleddwa omugenzi mu kigo kyaabwe era n’amutendereza ng’omukristo abadde omuyonjo bwatyo n’ayagaza abantu ebirungi ebiri mu kwekwata Katonda.
Mu ngeri y’emu Abaserikale ba Paapa, nga bakulemberwamu Anthony Mateega, bakoze emikolo egy’enjawulo mu kuwerekera omugenzi ono okuli okumuyingiza mu Klezia Lutikko, okumuggyako ekikompe n’ekitala ne biddizibwa Klezia kyokka enkofiira ye emuggyiddwako neekwasibwa Ssabasasumba oluvanyuma n’agiddiza famire y’omugenzi ekuumibwe ng’ekijjukizo
Omugenzi Malokweza yazaalibwa September 18,1928 n’ava mu bulamu bwensi nga August 16,2025 mu makaage e Kazo- Nabweru mu Kyadondo era agenda kuziikibwa ku biggya bya bajjajjabe ku kyalo Ngondati e Nkoni, Buddu enkya