Maama yevuma ettamiiro lya bba nti lye litabangudde amakaage mweyakazaala abaana 10.
Agambye nti bba omwenge gwamuwasa n'asuula n'obuvunanyizibwa bw'ekisenge kubanga akomawo agangayidde era bw'agwawo afuluuta ppaka nkeera mu budde bwa kalasamayanzi.
Taata alumirizza nti omwenge yaguyigira ku mukazi we lwakuba bweyaguyiga gwamuwomera ne gukatagga.
Bano batuuze b'e Kyayaye mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga.
Namuwonge Florence 54 yekubidde enduulu mu ofiisi etwala amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu nga agamba nti bba Katende Vicent 57 gweyazaalamu abaana 10 ku ky'okusuula obuvunanyizibwa bw'ekisenge agasseeko n'obutalabirira baana nga buli ssente gy'afuna awuuta bbidde.
Katende agamba omukazi yava mu maka n'atambula kyokka bweyanoonyereza oluvanyuma n'amuzuula nga afunye omulimu ku bbaala emu era nga wano Katende yasabawo ogw'obukuumi (askar) ne gumuwebwa n'ekigendererwa eky'okubeera okumpi ne mukazi we wabula nga abasajja abajja okunywa omwenge beegiriisa ne mukazi we ate nga omukazi yagaana okuta omulimu.
Omukazi agamba nti abaana 10 beyazaala ne Katende abazaalidde ku bugubi era n'okubakuza atobye nabo.
Namuwonge agamba nti bba bweyakolanga obw'asikaali baamusasula ssente 20,000/= buli mwezi wabula zonna n'azinywangamu omwenge.
Namuwonge agamba nti ku baana bonna 10 bebazaala tewali yasoma n'atuuka mu P.5 bonna baakoma mu bibiina bya wansi.
Katende agamba nti Namuwonge yanobanobanga era kyekyamuleetera okukaza omwenge nga agunywa okuwummuza ku birowoozo ate nti omukazi ne bweyabeerangawo nga amulumya nnyo mu by'obwegassi.
Ekirala ekiruma Katende kyekyokuba nti Namuwonge amuyisaamu amaaso nga amulaga nti tagasa era nga y'ensonga lwaki yefunirayo omukazi omulala amubeesebeese.
Kafeero alagidde Katende akendeeze omwenge kubanga gujja kumukanula n'ekirala nti gumujja mu mbeera n'okusuulirira obuvunanyizibwa.
Ku ky'okuwasa omukazi omulala, Katende nti amateeka tegamukugira kuwasa muwendo gw'abakazi b'ayagala wabula buli gw'awasa ateekeddwa okumutegekera ebintu ebibye ssi kumukakaatika mu bya mukazi mulala