Abantu be Kawempe South baganyuddwa mu Program ya state House ey'okuggya abantu mu bwavu

ABANTU abakola emirimu gya wansi mu Kawempe South baganyuddwa mu nteekateeka y’maka g’obwa pulezidenti eya Youth Wealth Creation progr 

Omutuuze we Kawempe ng'asanyukira Faizal Ndase
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABANTU abakola emirimu gya wansi mu Kawempe South baganyuddwa mu nteekateeka y’maka g’obwa pulezidenti eya Youth Wealth Creation program.
Omukwanaganya wa pulogulamu eno Faizal Ndase, asisinkanye abantu bano 17o e Makerere Kavule, n’abakwasa ebikozesebwa mu bizinensi zabwe okuli ebyalaani ebitunga, butto lita 20, obumonde,katoni ze ngaano, ebyuma bya dulaaya bya saluuni n’obuuma obusiika emberenge.

Ebimu ku bitu ebibaweereddwa

Ebimu ku bitu ebibaweereddwa


Youth Wealth Creation yatandikibwawo mu 2023, ewagirwa amaka g’obwapulezidenti okuyita mwagavunanyizibwaako Jane Barekye ng’abantu abakola emirimu egisokerwaako 1200, okuli abasiika chapati, abasiika chipusi, abatunga, abasaluuni n’abasiika emberenge bebakaganyulwaamu.
Ndase, agamba nti baddako Kawempe North, naategeeza omulimu tebasinziira ku kibiina ky’abyabufuzu nga bawandiika ku byalo abaanaganyulwa wabula basinziira ku bwetaavu bwa muntu.

Abafunye ebintu nga bafunye essanyu

Abafunye ebintu nga bafunye essanyu


Ono awabudde abafunye ebintu nti mukiseera kyetulimu eky’ebyokulonda babeere begendereza nga balonda abantu basobole okulonda abo abalina kye banabongerako era abalina omutima ogulumirirwa abantu nga pulezidenti Museveni gwalina.
Omu ku baganyuddwa, Bumali Mawejje, ategeezuzza nti pulogulamu eno ng’abantu abakola emirimu eginyoomwa abawadde amaanyi nti nabo balowoozebwaako neyeebaza pulezidenti Museveni olw'okugiwagira naabo abagiddukanya nabasiima olwokubeera abeerufu.