OMUKAZI abadde ali mu kusaawa ensiko, agudde ku mmundu ng'ekwekeddwa e Kiboga.
Akasattiro kano, kabadde ku kyalo Temanakali A mu muluka gw'e Kituma - Matanga mu ggombolola y'e Bukomero e Kiboga , omukazi Asha Baluka bw'agudde ku mmundu ng'ezingiddwa mu kakutiya akeeru.
Kigambibwa nti emmundu eno , ebadde etalazze, mubaddemu amasasi abiri era ng'ebiwandiiko ebigiriko, tebiteegerekeka bulungi olw'obutalavvu , nga kiteeberezebwa nti ebadde erudde mu kifo ekyo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Racheal Kawala, ategeezezza nti bakola butaweera okuzuula emmundu eno gye yava n'abantu ababadde bagyeyambisa mu bumenyi bw'amateeka.