Minisitule etongozza wiiki y'okuyonsa abaana

MINISTULE y’ebyobulamu etongozza wiiki y’okuyonsa abaana n’ekubiriza abakozesa okukkiriza nga bamaama okugenda ku mirimu n’abaana baabwe bakyayonka basobole okubayonsa ekimala. 

Minisitule etongozza wiiki y'okuyonsa abaana
By Jaliat Namuwaya
Journalists @New Vision
#Bulamu #Maama #Bamaama #Kutongoza

MINISTULE y’ebyobulamu etongozza wiiki y’okuyonsa abaana n’ekubiriza abakozesa okukkiriza nga bamaama okugenda ku mirimu n’abaana baabwe bakyayonka basobole okubayonsa ekimala. 

 

Omukolo ogwokutongoza wiiki eno gwayindidde ku Sheraton Hotel mu Kampala nga gwetabiddwaako aba UNICEF n’ebitongole ebirala ebiri mu mirimu egy’okulabirira abaana. 

 

Ddayirekita avunaanyizibwa ku byobulamu mu ministule y’ebyobulamu, Dr. Daniel Kyabayinze yannyonnyodde nti mu mbeera nga omukyala omukozi takkiriziddwa kugenda na mwana we ku mulimu waakiri aweebwe oluwummula olumala ng’amaze okuzaala oba akozese enkola ey’okukamula amabeere.

 

Yalambuludde ebirungi ebiri mu mata g’amabeere n’ategeeza nti galimu ebirungo bingi omuli obuttoffaali obuzimba emibiri gy’abaana sso nga ate era mu kuyonsa maama ayongera okuzimba omukwano wakati we n’omwana we.

 

Akulira ekitongole ekirwanyisa enjala ekya Action Against Hunger, Ritah Kabanyoro yagambye nti okunoonyereza kulaga nti abaana 92 ku 100 be bayonsebwa ku mabeere mu ssaawa esooka nga baakazaalibwa sso ng’abaana abasukka mu bitundu 80 ku 100 be bayonsebwa nga tebaweereddwa kintu kirala kyonna okutuusa bwe baweza emyezi 6.

 

Wiiki y’okuyonsa abaana yatongozeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti; “Soosowaza okuyonsa, abakyala mubateerewo embeera ebasobozesa okuyonsa abaana baabwe mu mirembe”.