Poliisi ekutte abasuubuzi 16 abagambibwa okugezaako okutiisatiisa bannaabwe ababadde bagguddewo amaduuka mu Kampala.
Akeediimo k'abasuubuzi katandise leero nga bawakanya emisolo egibabinikibwa nga bagamba nti mingi era nga basaba gavumenti ebakendeerezeeko.
Kigambibwa nti abamu ku basuubuzi, basoboddde okuggulawo amaduuka nti kyokka nga waliwo bannaabwe ababadde babatiisatiisa okubakolako obulabe era nga poliisi ebakutte.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti baakugenda mu maaso n'okuwa obukuumi eri abo abagguddewo era n'atiisa okwongera okukwata n'okuggalira abo abalemesa abalala okukola.