SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi mu ggwanga, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi asabye Abakkirizza okubeera obumu nga kino ky'ekijja okubasobozesa okutuukiriza emirimu gya Eklesia.
Obumu, Muzeeyi agamba nti bwebwasobozesa Abatukuvu b'Eklesia okuwereeza Katonda nebakola emirimu gye kubanga bwebubeerawo, n'Emirembe gibeerawo, awo buli kimu nekitambula bulungi (Abefeeso 4:3).
Okusaba bwati yasinzidde Bwetyaba mu ggombolola ye Makulubita e Luweero ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'Abatukuvu bonna olwabbulwamu ekiggo ky'Abasisita abasangibwa mu kifo Kya Eklesia kino.
Ku lunaku luno olwa June 15, Eklesia ekulizaako olunaku lw'Omutukuvu Jeronymos nga ye Muwolereza wa Ssabasumba Muzeeyi.
" Omutukuvu Jeronymos yakola ebyewunyo bingi okuli okukyusa Bayibuli okuva mu lulimi Oluyonaani okudda mu Lulatini bwatyo neyenyigira mu mulimu gw'okusasanya ekigambo kya Katonda mu Balooma. Ffe tusaanye okusaba Katonda atukozese okusasanya ekigambo kye, kibune wonna," Metropolitan Muzeeyi bweyasabye.
Ku lunaku luno, Muzeeyi yatongoza emirimu ebiri mu kifo kino okuli okutema Evvunike ly'okuzimba Eklesia ennene ey'Omutukuvu Dimitrios ng'eno yakuwemmenta obukadde 300 saako n'okutongoza omulimu gw'okuzimba ekigo ky'Abasisita ekiyitibwa All Saints Monastery nga kyakuwemmenta Akawumbi kamu n'obukadde 700.
Sr. Gabriella Nansubuga, Akulira abasisita mu Kigo kino yasabye abakkiriza bakozese obumu, nga bakwatira wamu okunoonya ensimbi ezinakola omulimu gwa Katonda guno.
Ensimbi ezisukka obukadde 20, zezasondeddwa okutandika ekifo ky'Abasisita kino.
Okubuulira mu Mmisa , BP Silvester Kisitu owe Jinja n'Obuvanjuba bwa Uganda yasabye abakkiriza okutuumanga abaana baabwe amannya g'Abatukuvu bano gasobole okubayisa mu bulamu obwa bulijjo.
Okusala Cake
Omukolo gwetabiddwako Metropolitan Innocentios Byakatonda eyawummula e Burundi ne Rwanda, Viika w'Eklesia Fr. John Kibuuka Bbosa ne Bakabona abalala bangi.
Ku ludda wa Bannabyabufuzi, kwabaddeko Omubaka wa Katikamu South Kirumira Lukalidde eyawaddeyo 1,000,000/-, Omubaka Omukyala owa Luweero mu Palamenti Brenda Nabukenya eyawaddeyo 500,000/- n'abalala.
Obwakabaka bwa Buganda bwakikkiriddwa Omumyuka asooka owa Kkangaawo David Lule Muzzanganda eyeebazizza Eklesia olw'enteekateeka eziri mu kifo kino okuli okuwereera n'okulabirira abaana abatalina busobozi saako n'okutumbula ebitone byaabwe bwatyo neyeeyama okutambula nayo.