SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II asiimye ekitongole kya Vision Group olw'okukwatiranga ku kitongole kye ki Kabaka Foundation mu kutumbula embeera z'abantu.
Kabaka agamba nti Vision Group efulumya n’Olupapula lwe oluganzi ne Bannamukago abalala bakoze kinene okumukwatirako mu nteekateeka z'ebyobulamu ezizze zikolebwa ekitongole ky'e kino.
Nnalinya Sarah Kagere (wakati Mu Gomesi) Ng'ali Mu Kifaananyi N'abakulembeze Abalala Ssaako Abakulu Ab'eddiini.
Bino bibadde mu bubaka bwe obumusomeddwa Nnaalinya Sarah Kagere mu kutongoza kkampeyini y'okutumbula eby'obulamu etuumiddwa 'Tubeere balamu'.
Omukolo gwabadde Bulange-Mmengo ku Lwokusatu olwakayita. “...Mu ngeri y'emu twegatiddwako Bannamukago ab'enjawulo era tutwala omukisa guno okubeebaza olw'okusalawo okukolagana naffe mu kutwala enteekateeka eno mu maaso," Kabaka bwe yagambye.
Amyuka avunaanyizibwa ku bivvulu mu Vision Group, Kennedy Mwota yalaze essanyu olwa Kabaka okusiima obuweereza bw'ekitongole kino ne buweebwa ekirabo kya satifikeeti n'awera nga bwe bagenda okutambulira awamu n'enteekateeka za Kabaka Foundation n'endala ez'Obwakabaka okulaba nga bazimanyisa abantu.
Enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula obulamu bw'abantu be nga bakeberebwa n'okufuna obujjanjabi ku ndwadde ezitali zimu okuyita mu nsiisira z'ebyobulamu ezigenda okutegekebwa mu Masaza gonna mu Bwakabaka.
Kampeyini eno Tubeere balamu egenda kutandikira mu Ssaza ly'e Buddu ng'olusiisira lugenda kubeera ku mbuga y'essaza lino okuva December 5 okutuuka nga 6,2024.
Akulira ekitongole kya Kabaka Foundation, Edward Kaggwa Ndagala ategeezezza nti abantu baakukeberebwa endwadde okuli Nalubiri, kookolo mu basajja n'abakyala,Okutonnya (Fistula) Mukenenya, amaaso n'endala era n'akunga abantu okujja mu bungi mu nteekateeka eno.