TEHRAN/IRAN
BANNANSI ba Iran enkumi n’enkumi beeyiye mu kibuga Tehran okukungubagira Bagenero 30 ne bannassaayansi 11 abaatemulwa Yisirayiri mu lutalo wakati wa Yisirayiri ne Iran, olwamaze ennaku 12.
Omukolo gw’okukungubaga gwabadde mu kibangirizi kya Islamic Revolution Square mu kibuga Tehran, nga bannansi baabadde bawuuba bendera za Iran, n’engoye eziriko ebifaananyi by’abagenzi, nga bwe bawaga nti beetegefu okuyiwa omusaayi olw’ensi yaabwe.
Bakira badding’ana eng’ombo gye batera okwogera ennyo nga waliwo obutakkaanya wakati waabwe ne America ne Yisirayiri, egamba nti ‘Death to America, Death to Israel’ (America ne Yisirayiri balina okufa baveewo).
Omukolo guno gwetabiddwaako Pulezidenti wa Iran, Masoud Pezeshkian, munnabyabufuzi era omuwabuzi wa Ayatollah Ali Shamkhani, eyakosebwa mu lutalo luno, era ng’amawulire agaasooka okufuluma gaalaga nti yali attiddwa.
Ne mutabani wa Ayatollah Ali Hossein Khamenei nga ye Mojtaba naye yabaddewo.
Emirambo gy’abagenzi gyateereddwa mu kkeesi ezaabadde zibikkiddwa engoye
okuli ebifaananyi by’abagenzi, ng’abantu baabadde bajja bwe bazinywegera, nga bwe batendereza emirimu egyakolebwa abagenzi mu kukola eby’okulwanyisa, n’okuzimba egye ery’amaanyi.
Mu lutalo Yisirayiri lwe yatuuma, ‘Operation Rising Lion’, ku lunaku olusooka yattiramu Bagenero ba Iran ne bannassaayansi be yali erumiriza okuba emabega w’okukola nukiriya Iran gw’eyagala okukozesa okusanyaawo Yisirayiri ku maapu y’ensi.
Bagenero abattibwa kuliko eyali omuduumizi w’amagye gaIran aga Islamic Republic of Iran
Armed Forces, Maj. Gen. Mohammad Bagheri, eyali aduumira amagye ekikola ebikwekweto eby’enjawulo ekya Islamic Revolutionary Guards Corps, Gen. Hossein Salami, eyali amyuka omuduumizi w’amagye Gen. Gholamali Rashid, eyali aduumira
amagye ag’omu bbanga Gen. Amir Ali Hajizadeh, eyali amyuka akulira ekitongole ky’amagye ekikessi Gen. Gholamreza Mehrabi, n’abadde amyuka omuduumizi
w’ebikwekweto eby’enjawulo Gen. Mehdi Rabbani