SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu atadde emikono ku bayizi ba Makerere College School 112.
Abakubirizza okubeera abanywevu mu kukkiriza, obutava mu kkanisa, okusomanga Bayibuli, okukung’aananga ne Bakristaayo bannaabwe, okuwagira ekkanisa, okugirwanirira, n’okwenyigira mu mirimu gyayo.
“Omukristaayo bw’assibwako emikono kitegeeza nti, akuze mu kukkiriza ate obugundiivu bwe mu kukkiriza aba alina okubulaga ng’anyiikira okusoma ebyawandiikibwa. Abavubuka mwagala nnyo Social Media, emikutu egyo, okuli WhatsApp, Instagram, n’emirala, mugyeyambise okusoma Bayibuli.
Muleme kubeera ng’abalala abagivumirako, okukonjera bannaabwe n’okusiga obukyayi,” Kazimba bwe yagambye.
“Sitaani temumuwa mukisa kubakema. Noolwekyo mumanye ekituufu kye mulina okukola, mu kiseera kyakyo ekituufu. Temwenyigira mu bikolwa bya bafumbo kuba mukyasoma. Bwe muliba
mumalirizza diguli, olwo muligenda mu kkanisa ne mugattibwa, ne mwetwalira obufumbo.
Mubeere balabufu, abasobola okumanya enjawulo wakati w’omukwano oguvaamu obufumbo n’amaddu ag’omubiri. Okussibwako emikono kitegeeza kutegeera Katonda ky’akwagaza, si kululunkanira bya nsi,” Kazimba bwe yagambye.”
Oluvannyuma yakyukidde Bannayuganda n’abasaba okukuuma emirembe mu biseera bino ebya kampeyini. “Tewali nsonga ekukubisa n’okutta munno, Weewaawo nga twawukana mu ndowooza zaffe ez’ebyobufuzi, tusobola okutambulira awamu,” bwe yagasseeko. Emikono yagibateereddeko mu kkanisa ya St. Francis mu yunivasite e Makerere ku Lwokutaano. Mu kusaba kwe, Rev. Dr. Lydia Nsaale Kitayimbwa yalabudde abayizi ku makanisa agagenda gameruka nga gawa enjigiriza enkyamu, n’abasaba okugeewala