Speaker Anita Annet Among agambye tayinza kwanukula mukulu we  Rebecca Kadaga kubanga ye mukyala eyakuzibwa

SIPIIKA wa palamenti Anita Among agambye nti siwakwanukula munne webali ku mbiranye y’okuvuganya ku kifo ky’omumyuka wa Ssentebe wa NRM ow’okubiri (omukyala) Alitwala Kadaga nti kubanga ye yakuzibwa bulungi nga n’olwekyo tayinza kuddamu bakulu be.  

Abawagizi ba NRM nga basanyukira Among
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

SIPIIKA wa palamenti Anita Among agambye nti siwakwanukula munne webali ku mbiranye y’okuvuganya ku kifo ky’omumyuka wa Ssentebe wa NRM ow’okubiri (omukyala) Alitwala Kadaga nti kubanga ye yakuzibwa bulungi nga n’olwekyo tayinza kuddamu bakulu be.

Waliwo akatambi akabadde kayitingana ku mikutu migata bantu nga eyali sipiika Kadaga ayogerera munne Among bwebabisanya mu kakiiko ka NRM akakulu (CEC) nti yakwata mukizigo nga n’olwekyo si ye muntu asaanidde okubakiirira.

Abantu nga basanyukira Anita Annet Among

Abantu nga basanyukira Anita Annet Among

Nga asinziira mu makaga g’omwami we e Buyende gyasisinkanidde ba Ssentebe ba NRM okuva mu disitulikiti 12 ezikola Busoga, sipiika Among asoose neyewuunya abamu ku bbo abalwanyisa nti si musoga kyokka nga beyafumbirwa.

Among agambye nti buli kimu akiraba naye nga tagenda kubeera Nga muntu atakuzibwa kuddiza maama we Kadaga bigambo.

Omwami we Eng. Moses Magogo agambye nti basiimu olw’obukulembezze bwa Kadaga wabula nga kekadde awuumule eby’obufuzi nga bino kubanga akuliridde nti n'abamusaba okwesimbawo bamukooya bukooya.

Among ng'abonga ku bantu

Among ng'abonga ku bantu

Omubaka wa Bugabula South Morris Kibalya nga yali ku luuyi nnyo lwa Kadaga agambye nti Kadaga teyamuvamu buvi wabula nga amazima getagiisa nti omuntu bwaba alina kyakoze asaanye okuwuumulako nga akadde katuuse.

Ba Ssentebe ba NRM okuva mu bitundu eby’enjawulo mu busoga basabye Among okubayamba okukulakulanya Busonga nga bwakoze e Bukedea naddala kunsonga y’okuzimba amasomero.