AKULIRA KCCA Hajjat Sharifah Buzeki, ategeezezza nga bwebagenda okuddiza amagombolola ga Kampala obuyinza ku kuyoola Kasasiro nga omu ku kawefube ow’okukuuma ekibuga nga kiyonjo.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Mmeeya we Nakawa okugogola emyala
Bino Buzeki abyogedde bw’abadde yetabye mu bulungibwansi e Mutungo zooni V mw’atongolezza n’entekateeka y’okukuuma obuyonjo eyatuumiddwa ‘’Tokola Error n’oyiwa kasasiro mu mwala’’ nga eno egendereddwamu buli omu okubeera mbega wa munne nga balonkoma n’okugamba ku abo abamansa kasasiro.
Ategezezza nga KCCA bw’ebadde bagabira kampuni ez’enjawulo omulimu gw’okuyoola kasasiro kyokka nga obuvunanyizibwa busigala bukyali bwabwe okubagulira ebikozesebwa nga kino basanze nga oluusi kizinngamya obuweereza nga kati baagala obuyinza bw’okugula ebikozesebwa buddizibwe ku magombolola nga bo babawa buwi sente nebabyegulira kisobole okwanguya omulimu.
Akakasizza nga Gavumenti bweyabawadde ensimbi zonna ez’okukola omulimu guno mu mbalirira y’omwaka nga kati ekyetaagisa kwekufuba okulaba nga bateekesa mu nkola ebyo byonna ebirina okukolebwa.
Okugogol emyala e Mutungo
Kyokka alaze okwennyamira olw’abamu ku bantu abakyalina omuze ogumala gamansa kasasiro n’abasaba okukikomya kubanga kivaako endwadde ezinyigiriza obulamu bwabwe.
Buzeki asabye abantu bulijjo okwemanyiiza okusunsulanga mu kasasiro naddala nga baawula oyo avunda ku atavunda kubanga kiyambako n’okwanguyiza abamuyoola omulimu.
Asiimye nnyo abatuukiriza obuvunaanyizibwa naddala nga bagamba ku abo abamala gamansa kakasiro n’etegeeza nga kino bwekiyamba ennyo mu kukuuma obuyonjo.
Mmeeya wa Nakawa Paul Mugambe ategezezza nga bwababakanye n’omulimu gw’okusomesa bantu ku bulabe obuli mu kumala gamansa kasasiro.
Abatuuze basitukiddemu okugogola emyala e Mutungo
Ategezezza nga abantu abamu bwebatamanyi bulabe buli mu kumala gamansa kasasiro kyokka nga kino kyekimu ne ku biviirako amataba mu kibuga nga kasasiro ono azibikira emyala olwo amazzi negabulwa wegayita.
Edith Mukisa alaze okutya olw’abantu abateeka omuzannyo mu by’obulamu kyokka n’asaba ne KCCA okwongera ku bikozesebwa nga emmotoka eziyoola kasasiro n’ebirala kubanga abantu bangi abali mu kitundu nga kino kitegeeza nti ne kasasiro alina kuba nga avaayo mungi.
Asabye abakulembeze okufuba okusomesa abantu bamanye obulabe obuli mu kumala gamansa kasasiro buli webasanze kubanga y’engeri yokka gyebajja okukuumamu obuyonjo