EMBEERA embi omwala ogwawula munisipaali ye Nakawa ne Kira gyegulimu etabudde abagukozesa ne bawanjagaira abakulembeze okugubakolera kubanga gususse okusannyalaza eby’entambula mu kitundu n’okwekwekamu ababbi ababatigomya mu matumbi budde.
Abatuuze mu kitundu kino bagamba nti embeera eyitirira nnyo naddala nga enkuba etonnye nga abasuubuzi babeera tebasobola kuyisaawo maali yabwe nga n’abaana ababeera bava ku masomero basanga obuzibu okusalawo.
Ekizibu bakitadde ku mwala guno okubeera nga teguzimbibwanga nga buli enkuba lw’etonnya nga gubomoka negweyongera okugaziwa olw’amazzi agabeera gagusima nga kati balina obweraliikirivu nti abantu abaguyitako banditandika okugwamu nebafiiramu naddala ku budde bw’enkuba.
Kansala we Banda, Ismail Mukoiko ategezezza nga omwala guno bwegwali omutono kyokka olw’obutakolebwa guzze gugaziwa olw’amazzi agaguyingira nga kati kisaana gukolebwe kisobozese amazzi okutambula obulungi n’abantu okuyitawo.
Mukoiko ategezezza nga obuzibu bwebwava ku baali bakola oluguudo lw’egaali y’omukka oluyita mu kitundu kino nga baasalako ekitundu ekimu nebaggalira boda boda nga tezikyakkirizibwa kuyitawo nga kati omuntu yenna ayagala okusomoka okuva e Banda okuyingira Kira nga alina ekidduka abeera alina kwetoloola Kireka.
Olw’embeera embi ez’omwala guno omli okuwomoggooka negukola empuku kyekitusibidde n’ababbi mu kitundu kino nga obudde bwebuziba nga bekwekamu olwo nebatigomya abantu nga babakuba n’okubabba.
Prossy Nanyonga nga akolera mu kitundu kino ategezezza nga emaali yabwe gyebasuubula bw’ebafaako olw’okubulwa abaguzi ababatuukako olw’omwala guno oguzibye ekkubo nga n’enkuba buli lw’etonnya gujjula amazzi negonoon emaali yabwe.
Ssentebe wa Banda III Ben Nangabo, asabye aba KCCA nga bwebatwala obuvunanyizibwa nebasolooza ensimbi z’omusolo mu bantu era okufaayo babakolere ku bibasumbuwa nga mwemuli n’omwala guno.
Nangabo ategezezza nti singa omwala guno guzimbibwa kijja kuyambako okwanguya eby’entambula n’okukulakulany eby’obusuubuzi mu kitundu kino.
Mmeeya we Nakawa Paul Mugambe ategezezza nga mu Nakawa bwemukyalimu emyala egitali mizimbe egiwera naye balina entekateeka mu mwaka gw’eby’ensimbi guno ogwatandise egimu gyakukolebwako.
Ategezezza nga mu kiseera kino bayinginiya bwebagenda okugirambula balebe bweginafaanana n’oluvannyuma gikolebwe mu mitendera n’okutandika n’omwaka guno.