Abavubka basabiddwa okwewala okkozesebwa mu kulonda

OMULABIRIZI wa Mukono eyawummula James Williams Sebaggala asabye abavubuka okwewala okukozesebwa bannabyabufuzi mu biseera by'okunoonya obululu ate bakozese eddembe lyabwe balonde abantu abatuufu so ssi ababagulirira ne babonoonera ebiseera byabwe eby'omumaaso.

Abayizi nga basala Cake
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
OMULABIRIZI wa Mukono eyawummula James Williams Sebaggala asabye abavubuka okwewala okukozesebwa bannabyabufuzi mu biseera by'okunoonya obululu ate bakozese eddembe lyabwe balonde abantu abatuufu so ssi ababagulirira ne babonoonera ebiseera byabwe eby'omumaaso.
 
"Ffe essaawa yonna tugenda tubalekere eggwanga lino naye bwe munaalonda obubi mmwe mugenda okubonaabona", omulabirizi Sebaggala bwe yagambye.
 
Yasinzidde ku ssommero lya Ndejje SS mu disitulikiti ya Luweero ng'assaako emikono abayizi 78 n"akunga abavubuka okwetaba mu kulonda wabula baleme kumala gabakozesa bakozese obululu, balowooze era balengerere wala nga bwe beegayirira Katonda abalage be balina okulonda.
 
OKUSSIBWAKO EMIKONO SSI MUKOLO BUKOLO
Omulabirizi Sebaggala yategeezezza nti okussaako emikono ssi mukolo bukolo na kutuusa luwalo wabula kufuna maanyi agakozesa ebitone Katonda bye yabawa okutwala mu maaso emirimu gy'ekkanisa.
 
Yabasabye okwewala okwawukana ne Katonda newankubadde nga bafunye ebibasomooza omuli endwadde, obwavu, n'ebirala beekwate Kristo eyawangula amagombe basobole okubivvunuka babeere bawanguzi.
 
Omukulu w'essommero lya Ndejje SS David Balaba Senkungu yategeezezza nti ng'ogyeko okuleebya mu by'enjigiriza n'emizannyo bafaayo ku ddiini n'empisa mu bayizi.
 
Yanokoddeyo ezimu ku pulojekiti ze baliko omuli okuzimba omulyango oguyingira essommero, okulyetolooza bbuggwe, okugaziya ebisaawe, okwongera ku bibiina abaana mwe basomesa n'ebirala.