Bannabyabufuzi ne bannaddiini batenderezza Rhoda Nakibuuka Kalema

RHODA  Nakibuuka Kalema,96, eyaliko Minisita Omubeezi w'ensonga z'abakozi mu gavumenti ya Uganda era Omubaka w'e Kiboga mu Palamenti ey'okubiri neeyokusatu, aziikiddwa wakati mu kukubirwa emizinga musanvu ng'akabonero k'okwebaza obuwereeza bwe.

Aba funeral service nga batuusaomulambo gwa HODA  Nakibuuka Kalema e Kiboga
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

RHODA  Nakibuuka Kalema,96, eyaliko Minisita Omubeezi w'ensonga z'abakozi mu gavumenti ya Uganda era Omubaka w'e Kiboga mu Palamenti ey'okubiri neeyokusatu, aziikiddwa wakati mu kukubirwa emizinga musanvu ng'akabonero k'okwebaza obuwereeza bwe.

Kalema aziikiddwa mu makaage agasangibwa mu Tawuni y'e Kiboga ku Lwomukaaga ku mukolo ogwetabiddwako nnamungi w'abantu okuva e Kampala n'ekitundu by'e Kiboga ne Kyankwanzi, omutumbuzi w'eddembe ly'abakyala Ono, ebitundu mweyakolera emirimu nkumu

Abakungubazi nga bawayo ebirabo mu kusabira omugenzi Rhoda

Abakungubazi nga bawayo ebirabo mu kusabira omugenzi Rhoda

Ku mukolo guno, Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni akikkiriddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Uganda era Minisita avunanyizibwa ku nsonga z'omukago gw'obuvanjuba bwa Afirika, Rebecca Kadaga

Pulezidenti Museveni yeebazizza emirimu egy'ettendo egikoleddwa omugenzi Rhoda Nakibuuka Kalema naddala okulungamya eby'obufuzi mu ggwanga lino.

Museveni agambye nti Mukyala Kalema yakola kinene okuyingiza, okusikiriza n'okwagazisa Abakyala eby'obufuzi n'okuwa obukulembeze era bangi bamulabiddeko nebabyenyigiramu. 

" Rhoda Kalema yaggyawo emiziziko n'ebiziyiza ebiteekebwa ku bakyala mu bitundu Byaffe n'akuliramu Kampeyini y'okusitula, n'okwagazisa Abakyala okwenyigira mu by'obufuzi ate n'okutwala obukulembeze," Kadaga bwasomye obubaka bwa Museveni. 

Ku lulwe, Kadaga atenderezza omugenzi ng'eyabayigiriza eby'obufuzi n'okwagala ensi yaabwe era ng'abakyala abato beegomba nnyo okulaba Baminisita Abakyala olwaali ne Rhoda Kalema Ono. 

Ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa ng'ayogera ku lwa Buganda

Ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa ng'ayogera ku lwa Buganda

Ku lwa Famire y'Omugenzi Martin Luther Nsibirwa azaala omugenzi Ono, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa yeebazizza gavumenti olw'okuwa Ssenga waabwe ekitiibwa n'aziikibwa mu bitiibwa era n'amwogerako ng'abadde omuntu omukozi ne waafiridde ku myaka 96.

" Waliwo abantu bangi abeeganya emirimu, obuwereeza ate n'okulambula bannaabwe naye Ssenga Ono si bwabadde oba obudde abadde abutetenkanya atya? Nga buli wamu atuukawo wadde mubadde temumutegezezaako," Waggwa Nsibirwa bwagambye.

Ye Dr. Gladys Nalubowa Zikusooka nga ye Muggalanda w'omugenzi ayiseyise mu biseera bya nnyina ebisembyeyo nga bali ku kitanda mu ddwaliro e Nairobi e Kenya n'agamba yafuna okuvaamu omusaayi Munda, omubiri negugonda nnyo nga yaggwaamu n'amazzi.

Dr. Zikusooka agambye nti Maama waabwe nga tanagonda ku mukolo gweyasembayo okukola e Bamusuuta, Kiboga nga July 26,2025 yali Mulamu bulungi era essaala yaabwe ebadde nti Katonda amuwe emyaka 100.

Okuziika Rhoda

Okuziika Rhoda

Ssabaddinkoni w'e Kiboga, Can. Francis Ssimbwa asinzidde wano n'akubiriza abantu abasomyeko n'ababeera e Bulaaya, bafube okuyigiriza abaana baabwe okwogera Oluganda. Kino akiggye ku baana n'abazzukkulu b'omugenzi okukalubirizibwa okwogera mu Luganda eri abakungubazi mu lulimi Oluganda.
Mu kubuulira, Omulabirizi w'e Mityana eyawummula, Dr. Copriano Bukenya asabye mu Famire eno muveemu omuntu afuuke omuwereeza wa Katonda ng'omugenzi Ono eyava mu bulamu bwensi nga August 3,2025 bwaabadde.

Ku lw'Obwakabaka, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atuuseeko mu kifo kino ku makya n'asasira ku ba Famire n'abakungubazi.

Abalala okuva mu Bwakabaka abeetabye ku mukolo guno kubaddeko Nnaabagereka Nagginda, Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule, Baminisita ba Kabaka n'abakungu abalala.

Bannabyabafuzi kubaddeko Baminisita Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Judith Nabakooba ow'ettaka, Ababaka ba Palamenti abava e Kiboga, Mathias Mpuuga ow'e Nyendo-Mukungwe e Masaka, Medard Sseggona, Joyce Baagala n'abalala