Akulira akakiiko ka bamusiga nsimbi mu maka ga Pulezidenti oba kayitte State House Investors protection Unit Col. Edith Nakalema atenderezza ekibiina kya Youth Platform Africa olw'okukyusa Uganda nga bayita mu business y'obulimi.
Eyasinze okwenyigira mu mirimu gya YPA asiimiddwa n'emmotoka
YPA bayamba abavubuka abakola business y'okulunda embuzi, okubawa emisomo,okubafunira obutale ssaako n'okubatonera ebintu eby'enjawulo mu nkola ya Inovative Section B Give away Car program.
Nga bamuyozaayoza
Nga kampuni tukyakula era era tukyali ku mutendera gw'abikozesebwa mu bulimi mu mu kiseera kino tujja kuba tusobola okusasaanya byonna eby'ebiva mu bulimi n'emirala emirala. Col.Nakaleme bweyategeezezza