SIPIIKA wa palamenti Anita Among ayimirizza akakiiko ka palamenti aka COSASE okulondoola ensonga z’omwala gwa Nakivubo nateekawo akakiiko ka bantu 5 okugirondoola ekitabudde ababaka n’olukiiko olufuzi olwa KCCA.
Akakiiko kano akakulembererwa omubaka wa Busiro East Medard Ssegona wiiki ewedde kaayita omugagga Ham Kiggundu, loodi meeya Erias Lukwago, sipiika Zaharah Luyirika, abatwala KCCA wamu ne ba minisita buli omu okuttaanya ku nsonga y’omwala guno.
Speaker wa KCCA Zahara Luyirika ng'li mu kakiiko ka Palamenti
Mubazze omugagga Ham akiridddwa Anthony Tomusange wabula nga bbo ba minisita tewali alabiseeko.
Ssegona atadiikiddewo okusoma ebbaluwa ez’enjawulo ezamuwereddwa okubadde eya pulezidenti n’eya minisita Kabanda eragira ekitongole kya KCCA okuwa Ham obuwagizi bwonna obwetaagisa okugenda maaso nokulaakulanya omwala.
Esembezzaayo ye ya sipiika Among eyawandiikirwa eri ssentebe w’akakiiko kano nga alagira akakiiko ka palamenti akalondoola eby’enguudo n’okuzimba eyawandiikibwa nga 19 August, 2025 nga eragira ssentebe waako Dan Kimosho (Kazo County) okukulemberamu abalala 4 okuli Kibedi Nsegumire(Mityana North) Rwemulikya Ibanda (Ntoroko) David Kabanda (Kasambya) ne Peter Mugema (Iganga Municipality ) okulondooola ensonga eno baleete alipoota mu nnaku 14.
Wabula ebbaluwa ya sipiika etabudde ababaka ku kakiiko ne bategeezezza nga bwabayisizaamu amaaso nga abadde alina kusooka kutuuza palamenti kusooka kujogerako n’okulaba oba akakiiko kano kabadde ketagiisa.
Allan Ssewanyana owa Makidye West aziimudde akakiiko akalondeddwa sipiika kagambye nti kaguddeko mikwano gye ate aba NRM.
Lord Mayor Ssaalongo Erias Lukwago ng'ali mu kakiiko
Yadde nga ababaka basabye ssentebe okukola okunyoyereza okwabye, kino ssentebe akiganye era bwebamusabye okugenda maaso n’ensonga endala eziri mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo, abagambye bajja kubiddamu wiiki ejja era akakiiko nakayiwa nga tabakiriza kugenda maaso nakwemulugunya.
YE Loodi meeya wa Kamapala Erias Lukwango yenyamidde olw’okubatwalira obudde ne babayita mu kakiiko kyokka ate ne bakayiwa nga tebawereddwa na mukisa kwogera ku nsonga z’omwala nagamba gyebaddukidde ate babamazemu amanyi.
Lukwago agambye babadde bazze n’obujjulizi obumala ku nsonga y’omwaala wabula nga ebbaluwa ya sipiika ekibamazeeko namusaba okuva mukuwenja akalulu ka CEC ayite palamenti etunnulire ensonga z’omwala.
Lukwago era agambye ensonga eno ketuuse mu palamenti tebagenda kumala gajivaako nasaba sipiika okubetegekerera kubanga buli omu waali yetaaga okulambululwa ku by’okutundanga ettaka lya Kampala nga bbo abakulembezze tebalina kyebamanyi.
Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika ye avuddemu akamwenyu nti ababadde bogerera ba kansala ba NUP nti be baali emabega w’okutunda omwala kekadde bibakalire ku mumwa kubanga amabaluwa kati bagerabiddeko nagamba bannabyabufuzi bonoonye amanya gaabwe olw’okuba bbo balina byegala okuyisaawo.