Basiimye Bukedde olw’okubategekera ebibuuzo bya ‘Mock

AMASOMERO ga Pulayimale okwetooloola eggwanga gajjumbidde ebigezo by’okwegezaamu ebya PASS PLE Mocks, ebifulumizibwa olupapula lwa Bukedde, era ne gasiima kkampuni ya Vision Group olw’enteekateeka eno eyamba abayizi baabwe okumanya we bayimiridde, nga beetegekera ebigezo bya PLE.

Basiimye Bukedde olw’okubategekera ebibuuzo bya ‘Mock
By John Bosco Mulyowa ne Emmanuel Ssekaggo
Journalists @New Vision
#Amawulire #PLE #Vision Group #Bukedde

AMASOMERO ga Pulayimale okwetooloola eggwanga gajjumbidde ebigezo by’okwegezaamu ebya PASS PLE Mocks, ebifulumizibwa olupapula lwa Bukedde, era ne gasiima kkampuni ya Vision Group olw’enteekateeka eno eyamba abayizi baabwe okumanya we bayimiridde, nga beetegekera ebigezo bya PLE.

Omusomesa Ng'ayogera N'abayizi Ba St. James Devine Foundation School Kasawo Nga Tebannakola Kibuuzo.

Omusomesa Ng'ayogera N'abayizi Ba St. James Devine Foundation School Kasawo Nga Tebannakola Kibuuzo.

Eggulo abayizi baatandise n’essomo ly’Okubala (Mathematics), ate leero baakukola Social Studies era bafune ne ansa za Mathematics gwe baakoze eggulo. Ku Lwokusatu Bukedde egenda kufulumya ekigezo kya Ssaayansi ne ansa za Social Studies, ate ku Lwokuna mujja kubaamu essomo ly’Olungereza (English) ne ansa za Ssaayansi.

Ku mmande nga September 1, 2025 mu Bukedde mujja kubaamu ansa z’essomo ly’Olungereza. Amasomero ag’enjawulo gajjumbidde ebigezo bino, era Bukedde gye yatuuseeko yasanze abayizi bakola kya Kubala. Ku ssomero lya Kids Care Primary School e Kayunga, dayirekita waalyo Phillip Wakwale yasiimye Bukedde olw’okufaayo eri abayizi b’eggwanga, okulaba nga beeteekateeka okukola PLE.

Abayizi Ba Canan Junior School E Nazigo Nga Bakola Ebigezo.

Abayizi Ba Canan Junior School E Nazigo Nga Bakola Ebigezo.

Ku Kayunga Mixed Primary School, amyuka omukulu w’essomero, Zoe Nakintu naye yasiimye Bukedde, olw’enteekateeka ya PASS PLE, gwe yagambye nti, eyamba abayizi mu masomero g’ebyalo okwegezaamu obulungi.

Aba Canan Junior School e Nazigo omu ku basomesa, Sarah Nayiga naye yasiimye Bukedde. Ku ssomero lya St. James Devine Foundation School e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono, dayirekita waalyo era ssentebe wa Kasawo Town Council, James Mulindwa yakubirizza amasomero mu Town Council y’e okugula Bukedde abayizi bakole ebigezo by’okwegezaamu bino, bamanye we bayimiridde.

Bano Ba Covert Junior School Matugga Kigoogwa

Bano Ba Covert Junior School Matugga Kigoogwa

E Bukomansimbi, abazadde baagulidde abaana baabwe olupapula lwa Bukedde ebigezo ne babikolera awaka. Evelyn Oliver Namata asoma ekibiina kya P.7 ku ssomero lya Nabbunga Fountain Of Education e Kaliisizo mu disitulikiti y’e Kyotera kw’ossa Pamela Maria Nassiwa asoma P.7 ku ssomero lya St. Paul Mixed P/S e Kitovu mu kibuga Masaka, Jjajjaabwe Nowerina Nakayemba.

Ono mutuuze ku kyalo Kigaba-Kawoko mu ggombolola y’e Butenga mu Bukomansimbi era yabagulidde Bukedde, ate n’abakuuma bakole ekigezo ky’Okubala nga tebakoppa, asobole okumanya we bayimiridde nga beetegekera okukola PLE ebinaakolebwa mu November.