Minisita alabudde abatunda liizi nga tezinnaggwaako

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja alabudde abantu abalina liizi ku ttaka lya Gavumenti n’abagamba nti, tebakkirizibwa kuziguza bantu balala.

Minisita Mayanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja alabudde abantu abalina liizi ku ttaka lya Gavumenti n’abagamba nti, tebakkirizibwa kuziguza bantu balala.
Mayanja yasinzidde ku pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ng’ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yagambye mu mateeka, omuntu okufuna ettaka mu ngeri ya liizi, okugula, okusikira oba mu ngeri endala yonna eri mu mateeka tekiggyaako bantu bwannannyini bwe balina ku bibanja byabwe.
Noolwekyo omuntu tosobola kutuula ku mmeeza na muntu mulala n’amuguza liizi nga bw’ayagadde. Ettaka lya Gavumenti eririko abantu, District Land Board tesobola kuligabako liizi.
Bw’oba oyagala okutunda liiziyo ng’emyaka teginnaggwaako, olina kugizzaayo mu kakiiko ka District Land Board ne bagiwa omuntu omulala gw’oyinza okuba ng’osembye. Liizi bw’eba ebadde ebuzaako emyaka 15 omuntu omulala gwe bagiwadde era afuna emyaka 15.
Mayanja agamba nti, ky’asanze ensangi zino omu bw’aguza munne liizi, ng’atandika okugoba abeebibanja ng’agamba tabamanyi kye yagambye nti, tekikkirizibwa.
Abamu bamanyi n’okusaba Gavumenti ebalayirire ku basenze abali ku ttaka lyabwe erya liizi, ekintu ekitasoboka kuba tesobola kwesasula nga ye nnannyini.
Embeera bw’eti gye yasanze e Bukuya mu Kassanda, ng’eyagula liizi asengula abantu. “Nziramu okulabula abagula ettaka okuli abeebibanja nti, mubeera muguze mpewo kuba obwannannyini bw’oweekibanja bwanywezebwa Ssemateeka, etteeka ly’ettaka n’ebiragiro Pulezidenti by’azzeayisa,” bwe yalabudde.
Mayanja agamba waliwo ebitundu gye yasanze abeebibanja nga bakkiriza okubasalako ettaka okugeza ku yiika omunaana ne basigazaako ebbiri nga babasuubizza okubawa ebyapa. Kino nakyo kikyamu era gwe baafera wa ddembe okwefuula n’ava ku ttaka lyo bw’oba osangiddwa nga tannakusalako.
Waliwo n’omugagga omulala Fred Bainomugisha gwe yasanze nga yakwata abapunta n’abatwala ku ttaka ng’akolaganye ne LC ng’akakiiko k’ebyokwerinda akakubirizibwa RDC tekamuwadde lukusa.
Obuzibu obulala abamu olumala okupunta nga batandika kutemaateka poloti nga batandika kutunda, ekintu ekikyamu. Ekintu kyonna bwe kiba tekiyise mu mateeka, abatuuze bakkirizibwa okukiwakanya era obuyinza bubaweebwa Ssemateeka.
Mayanja era yalabudde aba LC ne ba RDC abatera okugamba nti, bakkiriziganya dda, n’agamba nti, omuntu ne bwe mubeera mwakkiriziganya naye nga baakutimba bbula, w’ozuukukira obeera wa ddembe okwekyusa.
“Mukwano gwange Paasita namugamba nti, kasita obeera nga ky’olina kituufu ne bw’obeera wateekako omukono, era mu kunziramu yang’a-mba nti, bwe mba nasayininga, kati mbisayininguluse ng’ategeeza nti, akivuddemu,” Mayanja bw’agamba.