TTABAMIRUKA WA NRM: Museveni asomesezza abakiise ku byenfuna by’eggwanga

OKULONDA abakulembeze b’obukiiko ku lukiiko olufuzi olw’oku ntikko olw’ekibiina kya NRM ‘CEC’ kwatandikidde mu bugumu era omukolo gwagguddwawo ssentebe w’ekibiina, pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kisaawe e Kololo.

Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet nga batuuka e Kololo okuggulawo olukung’aana lw’aba NRM olw’okulonda obukiiko.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OKULONDA abakulembeze b’obukiiko ku lukiiko olufuzi olw’oku ntikko olw’ekibiina kya NRM ‘CEC’ kwatandikidde mu bugumu era omukolo gwagguddwawo ssentebe w’ekibiina, pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kisaawe e Kololo. Museveni yawerekeddwako mukyala we, maama Janet Kataha Museveni nga bano baayaniriziddwa abakulembeze ba CEC, ssaabawandiisi w’ekibiina Richard Todwong n’akulira akakiiko k’ebyokulonda aka NRM, Dr. Tanga Odoi.
Pulezidenti Museveni mu kwogera kwe yasoose kunnyonnyola ku byenfuna we bituuse
okuva NRM bwe yakwata obuyinza mu 1986 n’ategeeza nti ebyenfuna byali mu bukadde 3.9 obwa ddoola nga kati biyimiridde ku buwumbi 66 obwa ddoola.
Museveni yabasibiridde entanda ng’abakulembeze okukolera awamu okulwanyisa obwavu, okulwanyisa ababba ssente za gavumenti naddala eza PDM era n’abasaba okussa eriiso ejjogi ku poliisi okulaba ng’ekola omulimu gwaayo ogw’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka era n’abakuutira okuloopa abaserikale abagayaalira ku mirimu olwo abamenyi b’amateeka ne balya butaala.
Ku nsonga y’ebyebyobulamu Museveni agamba nti bitambudde bulungi era endwadde ezaalumbanga abaana kati tezikyabatta nga okusoomoozebwa okuliwo kwa kubba ddagala okuva mu malwaliro ga gavumenti ekiviirako abalwadde obutafuna ddagala. Oluvannyuma badelegeeti baatandise okulonda abakulembeze b’obukiiko okuli:
 bavubuka, abakazi, abaliko obulemu, abakadde, abavubuka, abasuubuzi, abaazirwanako
n’abatandisi ba NRM. Waabaddewo n’okulonda ababaka abakiikirira abakadde,
abavubuka, abaliko obulemu n’abakadde mu Palamenti. Obudde we bwazibidde nga tebannatandika kulonda.