KKOOTI etaddewo olwa July 10, 2024 lw’egenda okuwa ensala Kamoga Muwonge amanyiddwa nga Sheikh Umar asindikibwa mu kkooti enkulu awerennembe n’omusango gw’okukukusa omuwala omuto n’ekigendererwa ky’okumukozesa mu bikolwa by’omukwano.
Sheikh Umar omusomi w’edduwa e Nansana yaleeteddwa ku mpingu mu kkooti e Nansana okumanya omusango gwe wegutuuse wabula yawotoose bwe yamazemaze okulaba emikwano n’enganda gyaludde nga ayamba nga tewali ali mu kkooti.
Kigambibwa nti omusango guno Umar yaguzza wakati wa 2018 ne November 16, 2023 mu bitundu by’e Nsumbi-Nansana bwe yakukukusa omuwala Habibah (eddala lisirikiddwa) ow’emyaka 13 ng’amulimbye nga bwagenda okumuyamba okumuweerera kyokka n’amwefuulira ng’ayagala kumuyingiza mu bikolwa by’omukwano.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Brenda Najjuko lwasabye kkooti ebawe akadde bakole ennongoosereza mu mpapula ezigenda okusindika Sheikh Umar mu kkooti enkulu atandike okwewozaako.
Umar eyabadde omuwotofu ng’ayambadde jjiini n’omujoozi olwasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’e Nansana, Irene Nambatya kwe kuwanika omukono asabe okweyimirirwa wabula omulamuzi n’amutegeeza nga bwalina okutwala okusaba kwe mu kkooti enkulu kuba y’erina obuyinza obuwulira emisango gya nnaggomola egigwa mu ttuluba ly’emisango egivunaanibwa Sheikh Umar.
Bino we bijjidde nga mikwano gya Umar naddala ku mikutu gya social media gyebuuza omuntu waabwe gye yadda nga n’abamu baali balowooza nti yawambibwa kuba bangi babadde tebamanyi nti ali mu limanda e Luzira
Comments
No Comment