E Kawempe baagala NIRA ebongere ku bikozesebwa

ABAKULEMBEZE mu Kawempe basabye ekitongole kya NIRA okwongera ku byuma ebikozesebwa okuwandiika abantu okufuna n’okuzza obuggya densite kubanga abantu bangi.

Abatuuze mu muluka gwa Makerere III nga basimbye layini okwewandiisa ku Densite.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE mu Kawempe basabye ekitongole kya NIRA okwongera ku byuma ebikozesebwa okuwandiika abantu okufuna n’okuzza obuggya densite kubanga abantu bangi.
Ekitongole kya NIRA kyatandika okuwandiisa abantu okufuna densite okuli abazizza obuggya, abatazirina, n’abaagala okukyusa ebibakwatako nga May 27 oguwedde nga e Kawempe baasokedde mu muluka gwa Bwaise II mu Lufula zooni, mu Central Zooni e Kyebando ku ofiisi za Safe Boda n’awalala. Okuwera ssaawa 12 ez’oku makya abantu baba bamaze okutuuka mu bifo we bawandiisiza wabula ku bano waliwo abadda awaka nga tebawandiisiddwa.
Akulira okuwandiisa mu Kawempe, Daniel Owembabazi yategeezezza nti, mu Kawempe baakawandiisa abantu abasoba mu 50,000. Ku nsonga y’okuggyako abantu ssente yagambye nti, baagikwasa poliisi, ofiisi ya RDC n’eya DISO okulaba nga bakwata abeefuula abakozi ba NIRA ne baggyako abantu ssente.
Ssentebe wa Kiggundu Zooni, Paul Kibuuka yategeezezza nti, aba NIRA balina okwongera ku byuma ebikozesebwa kuba abantu naddala abava mu bitundu ebirala bangi olwo ab’omu kitundu ne bafikka. Yagasseeko nti, kompyuta balina ntono ate oluusi zituuka ne zigaana okukola okumala eddakiika ekivuddeko omulimu gw’okuwandiisa okutambula akasoobo.
Joyce Nakamatte ow’e Bwaiseyagambye nti, abawandiisa tebaagala kulaga nti, balya enguzi naye nga bagirya, balina abantu be bakozesa okuyita mu bantu nga basaba ssente 10,000-15,000/- okubanguyiza, nga bano olumala okugibawa babaggyako empapula olwo abawandiisa ne basoma amannya, abantu bwe beemulugunya nga babagamba nti, baafisse eggulo ekitali kituufu nga kino kivuddeko abantu okusiiba mu layini.
Akulira ebyokwerinda mu Mbogo zooni, Kasim Lukolokomba yategeezezza nti, abantu abaali baasenguka be basinze okudda okwewandiisa ng’obuzibu obuliwo abamu bajja tebaagala kusimba layini.
Omumyuka wa sipiika wa kkanso y’e Kawempe, Charles Sserubiri yategeezezza nti, mu Central Zooni e Kyebando balina kompyuta 5 zokka ng’ate abantu bayitirivu, n’asaba aba NIRAokukyusaamu bafune ebikozesebwa babiteeke mu buli kitundu abantu beewandisize gye baafunira densite mu kusooka nga kino kijja kukendeeza ku mujjuzo.