Engeri Trump gy’atabaganyizza Rwanda ne Congo n’akutula ddiiru y’ebyobugagga

Trump (atudde) ng’ayogera. Ku ddyo ye minisita Therese Kayikwamba ne minisita Olivier Nduhungirehe (owookubiri ku kkono ) aba Rwanda abaamusisinkanye okuteeka emikono ku ndagaano mu kibuga Washington
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

WA SHINGTON /AMERICA
PULEZIDENTI wa America, Donald Trump atabaganyizza amawanga; Rwanda ne Congo ne bakola endagaano ey’emirembe, ne yeewaana nti mu ddiiru eno America egenda kuyiikuula ebyobugagga bya Congo ebiri eyo mu butitimbe bwa ssente.


Endagaano eno yateereddwaako omukono baminisita b’Ensonga ez’ebweru mu Rwanda ne Congo, okuli Therese Kayikwamba Wagner owa Congo ne Olivier Nduhungirehe
owa Rwanda, mu kibuga Washington mu America, nga Pulezidenti Trump yabaddewo,  n’omumyuka we, James David Vance, ne minisita w’Ensonga ez’ebweru, Marco Rubio baabaddewo.

Okusinziira ku mukutu gwa The  Guardian, Trump yagambye nti olutalo
lwa Congo ne Rwanda lubonyaabonyezza nnyo abantu ba bulijjo era ze zimu ku ntalo ezisinga okuba embi ensi ze yali erabye, nga lubadde lulina okukoma mu bwangu.
Yayongeddeko nti mu ddiiru eno America efuniddemu ebyobugagga bingi era essaawa yonna bagenda kutandika okubiyiikuula nga teri  abakuba ku mukono.

Congo erimu ebyobugagga bingi ebikozesebwa mu kukola ebyuma ebya buli ngeri. Muno mulimu ebyobugagga nga tantalum, zaabu, cobalt, ekikomo (copper) ne Lithium, nga kati America yafunye olukusa okubisima nga bw’etwala.

Endagaano eno ebaddemu America  ne Qatar nga abatabaganya, egenderedde okumalawo okusika omuguwa n’okulwanagana wakati wa Congo ne Rwanda, ng’emirundi egisinga babadde balwana okuyita mu bibiina by’abayeekera, nga buli ludda lulumiriza lunne waalwo okutabangula emirembe.
Congo ezze erumiriza Rwanda nti y’evujjirira abayeekera ba M23, abaagala okuggyako gavumenti ya Congo, nga bagirumiriza okusosola n’okutulugunya abantu b’eggwanga
ly’Abanyarwanda ababeera e Congo, abamanyiddwa nga Abanyamulenge.
Rwanda nayo erumiriza nti Congo  evujjirira n’okubudamya abayeekera ba Democratic Forces for the Liberation of Rwanda (FDLR), ekibiina ky’abayeekera ab’eggwanga ly’aba Hutu abadduka e Rwanda oluvannyuma  lw’ekittabantu ekyaliyo mu 1994.
Endagaano eyateereddwaako omukono
egamba nti Rwanda erina okuggya amagye gaayo agali mu buvanjuba  bwa Congo mu nnaku 90. Amagye gano Rwanda egamba nti yagasindikayo kulwanyisa bayeekera ba FDLR.
Era bakkaanyizza okuggyawo obubinja bwonna obwa baamukwatammundu naddala FDLR, okulaba ng’ mirembe giddamu okubukala u Congo, era buli ggwanga liteeke ekitiibwa mu nsalo z’eggwanga eddala ezirambikiddwa mu mateeka. Oluvannyuma lw’endagaano eyo, kati Congo, Rwanda n’abayeekera ba M23, bali mu Qatar mu nteeseganya ez’emirembe, okulaba bwe babeerawo mu Congo ey’awamu awatali kusosolwa