Ekyavuddeko omuliro ew’omugenzi Kawanga Semogerere kigulumbya poliisi

Poliisi n’ekitongole ky’amasannyalaze basindise abakugu mu maka g’eyali ssenkaggalewa DP, Dr. Paul Kawanga Ssemogerere, okuzuula ekyavuddeko muliro ogwakutte amaka.

Amaka g’omugenzi Ssemogerere bwe gafaanana oluvannyuma lw’okukwata omuliro akasolya ne kagwamu n’ebintu by’omu nnyumba byonna ne bisaanawo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Poliisi n’ekitongole ky’amasannyalaze basindise abakugu mu maka g’eyali ssenkaggale
wa DP, Dr. Paul Kawanga Ssemogerere, okuzuula ekyavuddeko muliro ogwakutte amaka.
Kiddiridde omuliro ogwakutte amaka gano aga kalina agasangibwa mu zzooni ya Stenseera Lubaga ku Lwokutaano oluwedde ne gasuulamu akasolya n’okusaanyaawo ebintu bya bukadde. Zooni ya Stenseera yabbulwamu omugenzi Bishop Henri Streicher eyakola ennyo mu kuzimba Lutikko y’e Lubaga. Dr. Ssemogerere yafa mu November
18, 2022 ku myaka 90. Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala
n’emiriraano agambye nti, poliisi n’abamasannyalaze bazzeeyo okwetegereza embeera eriwo, bamanye ekituufu kwe gwava nga bali wamu n’abekitongole kya National Building Review Board. “Tetunnamanya kituufu muliro kwe gwava, naye tuteebereza
nti gandiba amasannyalaze, ate engeri waggulu gye waali waazimbibwa n’embaawo gwasaasaanawo nnyo ne gusaanyaayo yonna, y’ensonga lwaki ebitongole bino bizzeeyo okwetegereza okuzuula ekituufu,” Oweyesigire bw’agamba. Loodimeeya wa Kampala,
Elias Lukwago naye yatuuseeko mu maka gano ne yennyamira olw’okufuuka omuyonga, n’ategeeza nti kibadde kifo kya byafaayo gye bali, kubanga
omugenzi Ssemogerere eyabalera wano we yabatendekera ebyobufuzi. Omuliro gwatandikira mu kisenge omuterekebwa ebitabo (Library) ekiriraanye ekya namwandu
Geremina Namatovu Ssemogerere eyali yeebase, abakozi abaaliwo olwalaba omukka ne
bakuba enduulu, baliraanwa ne banguwa okudduukirira. Namwandu yaggyibwayo
ng’omuliro gutandise okubuubuuka n’addusibwa ewa Ssaabasumba Paul Ssemogerere ku Klezia e Lubaga, eyamubudamya ng’ekyosi bwe kiyita. Gwayongera
okwaka, akasolya ne kagwamu n’ebintu byonna ebyali mu nnyumba ne bisaanawo.
Hellen Namukwaya muzzukulu wa Ssemogerere ku lwa ffamire agambye nti, nabo tebannamanya nsibuko ya muliro guno, ng’omulimu baagulekedde poliisi ekole okunoonyereza ezuule ekituufu. Ssentebe Justus Agaba agambye nti, omuwala akola awaka yabategeeza nti, baali wansi ne balengera omukka omuyitirivu oguvaamu ennimi z’omuliro nga guva waggulu mu ‘library’ ate nga mukadde naye gye yali waggulu
mu kisenge kye nga yeebase. Baakuba enduulu abantu ne bajja ne basobola okumuggyayo nga tafunye buzibu ne bamutwala ewa Ssaabasumba e Lubaga, agamba baakubira poliisi ezikikiza omuliro kyokka yagenda okutuuka nga gusaasaanye