Owa NEMA awadde muliraanwa we ennaku 21 okusengula enkoko 40,000

OMULUNZI ow’amaanyi e Nkumba mu Wakiso asattira olwa muliraanwa we era omukungu mu kitongole kya NEMA okumuwa ennaku 21 zokka okusengula ffaamu ye okuli enkoko emitwalo 4 n’ebisolo ebirala.

Lawrence Nkalubo ng’alaga emirimu egiri ku ttaka gye baagala okuggyako.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULUNZI ow’amaanyi e Nkumba mu Wakiso asattira olwa muliraanwa we era omukungu mu kitongole kya NEMA okumuwa ennaku 21 zokka okusengula ffaamu ye okuli enkoko emitwalo 4 n’ebisolo ebirala.
Lawrence Nkalubo ow’e Bendegere - Nkumba, y’alagiddwa okwamuka ettaka lya yiika 6 kw’alina enkoko ze 40,000 n’embizzi n’alagirwa okusenguka n’ebiriko byonna biggyibweko.
Amaka ga Nkalubo ne ffaamu ye biri ku kyalo kye kimu n’akulira NEMA, Barirega
Akankwasa era abamu ku batuuze balumiriza nti ensonga za NEMA
okusengula munnaabwe tezirina  kakwate ku bya butonde kubanga ffaamu eri ku lusozi.
Mu kiwandiiko ekiriko omukono gw’akulira NEMA, Akankwasa, Nkalubo yalagiddwa okusengula ffaamu ye kubanga emirim  egikolebwa ku ttaka gyonoona
obutonde bw’ensi ng’era tegikolebwa mu mateeka.
Kuno era avunaanibwa okulunda enkoko ezisoba mu 1,000 nga talina layisinsi ya kulunda nkoko zino okuva mu NEMA. Mu kunnyonnyola kwa Nkalubo, agamba yatandika emirimu gye mu mwaka gwa 2000 era by’akola byalambulwa ne Pulezidenti
Museveni n’amuwa ne ku ssente ze yayongeramu okutambuza emirimu, wabula ate kimwewuunyisizza okulaba nga mu mwaka guno bamusenda okuva ku ttaka ng’ebbanga lyakoledde emabega tewali amugamba kubeera mumenyi w’amateeka. Abantu abasoba mu 30, be baaweereddwa emirimu ku faamu eno era nga kiyambye abavubuka bangi.
Ensonga ya kasasiro agamba agikutte bulungi n’atangira okuwunyirira abatuuze ku kyalo n’obutayonoona butonde bwa nsi.
Ekiwandiiko ekyamuweereddwa okuva mu NEMA kimulagira okuyimiriza emirimu amangu ddala w’afunira ebbaluwa, okusaanyaawo ebiriko n’okulekera awo
by’akola, ekintu ekimunyigirizza n’abantu b’akozesa.Ssentebe LC I, Bendegere,
Samuel Mpanga agamba nti emirimu egikolebwa ku ttaka gimaze ebbanga eriwerako nga tewali kwemulugunya kwonna okuva mu batuuze. Tewabadde na kutuukirira ofiisi ye ku kwonoona obutonde bw’ensi ekiraga nti emirimu egikolebwa giriwo mu butuufu.
Kirabika waliwo okwegwanyiza n’okulemesa omutuuze okubeerako by’akola ng’ate bikulaakulanyizza ekitundu n’okuwa abavubuka emirimu ababadde tebagirina.