Poliisi ezzeemu okuvunaana Luzzi

WABADDEWO akasattiro ku kkooti e Makindye nga poliisi eddamu okukwata Abraham Luzzi.

Luzzi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

WABADDEWO akasattiro ku kkooti e Makindye nga poliisi eddamu okukwata Abraham Luzzi.
Kiddiridde poliisi okukwata Luzzi ‘Mr. Economy’ n’emutwala mu kkooti ku musango gw’okufera omusuubuzi wa sipeeya, Shamim Nabbanja obukadde 600 ng’amusuubizza okumuguza ennyumba e Makindye.
Omulamuzi w’eddaala erisooka e Makindye, Yiga Adilu yategeezezza nti enjuuyi zombi bwe ziba ziri mu kkooti, kiri mu mateeka avunaanibwa okweyimirirwa era n’akkiriza Luzzi okweyimirirwa ku bukadde bw’ensimbi 40 ezitali za buliwo.
Kyokka Luzzi abadde afuluma kkooti, ate poliisi y’e Katwe n’eddamu n’emukwata ku musango gw’okubuzaawo omukazi ku fayiro nnamba SD REF 78/27/06/2025.
Luzzi bwe yatuusiddwa mu ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango, Abdela Sabila n’amusomera ogw’okubuzaawo muwala wa Aloysius Matovu Joy, ayitibwa Ndibalekera Nabagereka, wabula n’ayibulwa ku kakalu ka poliisi.