OLUKUNG’AANA lw’enjiri olwa olwa Paasita ali ku mutindo gw’ensi yonna, Benny Hinn, ku Miracle Center ey’Omusumba Robert Kayanja lwasitudde ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’ebikonge abeenyingidde mu kusaba okwabaddemu n’ebyamagero.
Ng’oggyeeko Nabagereka, ebikonge ebirala mwabaddemu; Sipiika wa Palamenti, Anita Among, omulamuzi wa kkooti ey’oku ntikko Catherine Bamugemereire n’abalala era Paasita Benny Hinn yabasabidde essaala n’ebayingira.
Nnaabagereka n’abantu abalala bonna baayimiridde ne basaba nga bawanise emikono era ye Paasita Benny Hinn bwe yamutuuseeko, yamukutte n’amusabira essaala bwe yamuyingidde n’atuula mu ntebe ye.
Sipiika Among eyabadde ne mutabani we, Paasita yamusabidde kyokka ye yasigadde ayimiridde. Oluvannyuma yawaddeyo ensigo ya bukadde 50 ez’obuliwo.
Akulira ekitongole ekikettera ebweru wa Uganda ekya ESO, Joseph Ocwet naye yasabiddwa kw’ossa abakungu abalala okuva mu mawangaag’enjawulo nga Congo, Ethiopia, China n’abalala.
Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet nga bayita mu katambi akaalagiddwa mu kkanisa, beebazizza Pr. Benny Hinn olw’okujja mu Uganda okugiwa emikisa n’amafuta g’okukkiriza.
Museveni yategeezezza nti, okujja kw’eddiini mu Uganda kwaleeta essuula empya mu bantu ey’okukkiriza kw’omwoyo nti, waliyo n’obulamu obuggya ng’okufa kutuuse eraagamba nti, buli lw’alaba abakuhhaanye mu kukkiriza, afuna ekifaananyi ky’omusamaliya ow’ekisa owa Bayibuli.
Nga mwoyo alinnye tomanya biddirira, Pr. Benny Hinn yasimbudde essaala eyayogezezza Abachina mu nnimi nga bw’abagobamu emizimu, bakira abakoonako bayiika ng’olowooza bayitiddwaamu musisi anti okukankana kwe babaddeko olw’ebigwo kw’ossa agajjulujjulu ge batiiriisa n’okukuba ebiwoobe ng’abalinnyiddwaako emmandwa z’e China.
Ebyewuunyisa byeyongedde okulabika eno ng’essaala egenda mu maaso, waawulikiseeyo enduulu ey’oluleekereeke mu bantu, okwekkaanya nga waliwo nnamukadde abadde atambulira mu kagaali k’abalema ayimuseemu atambula n’ebigere essanyu ne libula okutta abakkiriza.
Yakutte kkwaaya y’abasoba mu bayimbi 2,000 bonna n’abakuba ekigwo ekyewuunyisizza abakkiriza ne bagamba nti, ddala ono alina amaanyi ag’enjawulo, ng’eno abantu bwe basaakanyiza waggulu mu nduulu ey’okumutendereza, abandi nga bakaaba olw’essanyu olw’okulaba ku kyamagero ekyo.
Mu ddoboozi ery’eggono, Pr. Benny Hinn yayimbye ennyimba z’omwoyo ng’ateekamu erinnya Uganda okulaga nti, ya mukisa, kyokka kino yabadde ng’akoowoola lubaale anti abantu okwerindiggula ebigwo baafuuse baana baliwo.
Pr. Benny Hinn yasomesezza ku by’omwoyo kyokka n’asaba abakkiriza okwegendereza ku bulamu bwabwe kuba tebugulwa ate bumpi ekyenkanidde awo bwe basaana okukwata ng’akalira.
Yasabye abakkiriza obutalulunkanira nnyo byabugagga kuba biggwaawo wabula enneema ya Katonda yo esigalawo naddala singa oba omwesize. Yatenderezza omukwano Uganda gw’emulaze n’asuubizza okudda ekiseera bwe kiriba kituuse.
Yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okukkiriza eddiini okujja mu ggwanga oluvannyuma lwa Pr. Kayanja okumuwa ebyafaayo nti, Kabaka Muteesa I ye yawandiikira Abazungu okugireeta kuno era ekuhhaanyizza enkuyanja y’abantu b’alabako kati.
Yasabidde ensi yonna okubukalamu emirembe naddala ewaabwe gy’asibuka mu Israel gye yava nga wa myaka 14 n’awahhangukira e Canada olw’entalo wakati waabwe n’Abawarabu ezitakoma. Yagasseeko Dr. Congo, Sudan ne Uganda byonna okutebenkera.
Yakooneddemu Omusumba Kayanja nti, obugenyi bwe bwonna okwetooloola Afrika abamwagala bateekeddwa kuyitira mu ye ekyasanyudde endiga ze.
Abantu abasoba mu mitwalo 50 okuva e Bule ne Bweya be baakuhhanidde ku Miracle Centre Cathedral Lubaga okufuna amafuta ga musajja wa Katonda abalala bukadde ne balabira ku ntimbe za ttivvi n’emikutu emirala.