Eyali Supreme Mufti w'e Kibuli, Sheikh Siliman Ndirangwa akaabye n'abakungubazi abalala bw'abadde alombojja ebirungi omugenzi Dr. Hajji Bulaim Muwanga Kibirige amanyiddwa nga BMK by'akoledde ekika kye, ffamire ye, Obusiraamu ng'eddiini, Obwakabaka, ne Uganda okutwalira awamu.
Sheikh Ndirangwa ng'ayoza ku munnye