SAWUNA etulise n’eyokya abasangiddwaamu nga beeyoteza okukkakkana ng’omu emumenye okugulu. Bino byabaddewo ku Ssande akawungeezi ku wooteeri ya Buziga Country Resort mu zooni ya Upper Buziga mu Makindye.
Ekifo we baabadde bootera kiri ku wooteeri era bwe yatulise omuliro ne gutuntumuka ne guggyako akasolya n’okumenya ebisenge. Abavuzi ba bodaboda abakolera okumpi n’ekifo kino baategezezza Bukedde nti, bwe baawulidde okubwatuka, baasoose kulowooza nti, bbomu olw’omusinde.
Wabula oluvannyuma baakizudde nti, yabadde sawuna bwe baalabye abantu abaabadde bayidde nga bayaayaana okutwalibwa mu ddwaaliro. Abamu ku baabaddewo bagamba nti, ebbugumu lyabadde lingi munda ekyaleetedde ekicupa kya ggaasi (gas cylinder) eyabadde munda okubwatuka.
Abakyala basatu abaabadde munda baakoseddwa nga ku bano kuliko; Zaharah Nakaweesi Kasene,39, omutuuze w’e Katuuso - Buziga ng’ono ye yamenyese okugulu n’okufuna ebisago eby’amaanyi.
Abalala abaakoseddwa kuliko; eyategeerekeseeko erya Hajjati Masitula ng’ono yayokeddwa omuliro mu kifuba n’ebitundu ebirala ne Maama Ram eyafunyeebisago eby’amaanyi eby’omuliro. Baatwaliddwa mu malwaliro okuli; Kiruddu, Nsambya ne Mulago gye bafunira obujjanjabi.
Kkansala w’ekitundu kino ku ggombolola, Beckham Kakooza yategeezezza nti, kano kaabadde kabenje kuba ekifo kino kijjumbirwa abantu bangi naye babadde tebafunangako mbeera bw’eti, nga mu kiseera kino nga bo abakulembeze balinze lipooti entuufu ku kyavuddeko Sauna okubwatuka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti, bakwataganye n’ebitongole bya bayinginiya okunoonyereza ekyavuddeko ekifo kino okubwatuka.Guno si gwe mulundi ogusoose ebifo ebiyoterwamu ‘sauna’ okufuna obuzibu abali munda ne bakosebwa.
l Mu 2011 e Ntinda, abantu 8 baafuna ebisago eby’amaanyi oluvannyuma lwa ggaasi okubwatuka munda mu Health Club Sauna.
l Mu 2019 e Kyaliwajjala mu Wakiso era ekifo ekiyoterwamu ‘Steam Bath Boiler’ kyayabika ku Marco Gym and Spa abantu 5 ne bafuna ebisago eby’amaanyi