Owa S3 agambibwa okutta muyizi munne e Mbale poliisi emusanze Butalejja!

POLIISi ekutte n’eggalira omuyizi wa S3 ku ssomero lya Mbale High School, agambibwa okufumita muyizi munne eyali asoma S4 ekiso n’afa.

Owa S3 agambibwa okutta muyizi munne e Mbale poliisi emusanze Butalejja!
By Stuart Yiga ne Faisal Kizza
Journalists @New Vision
#Amawulire #Butalejja #Kutta #S3 #Muyizi #Poliisi #Kukwata #Mbale

POLIISi ekutte n’eggalira omuyizi wa S3 ku ssomero lya Mbale High School, agambibwa okufumita muyizi munne eyali asoma S4 ekiso n’afa.

 

Akram Karioki, 18, omutuuze kunkyalo Musoto, ekiri mu Mbale Industrial Divizoni, ye yakwattiddwa ku by’okutta, Shafi k Wasike,19.

 

Omugenzi bayizi banne baagezaako okumutwala mu ddwaaliro lya Mbale Regional Referral Hospital, baali baakatuuka, ne bakabatema nti yali amaze okufa.

 

Ekikangabwa kino kyaliwo akawungeezi ku ssaawa 11:00, mu kibangirizi omuli amaduuka g’Abayindi ekimanyiddwa nga Amber Stores, ekisangibwa mu kibuga Mbale, oluvannyuma lw’abayizi okufuna obutakkaanya bwe baali baakasiibulwa okudda awaka.

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, Rogers Taitika yakakasizza okukwatibwa kwa Karioki, gwe yategeezezza nti, babadde baludde nga bamuyigga naye ng’abadde yeekukumye mu disitulikiti y’e Butalejja. 

 

Mu kiseera kino akuumirwa ku poliisi e Mbale era akadde konna waakuleetebwa mu kkooti avunaanibwe ogw’obutemu. 

 

Okunoonyereza kwa poliisi kulaga nti omugenzi yali ne mikwano gye abalala baalabira awo ng’ekibinja ky’abayizi ekirala kibafubutula okuva emabega era wakati mu kavuvung’ano, Wasike n’afumitibwa ekiso.

 

Obumu ku bubinja bw’abayizi aboogerwako kuliko akayitibwa City Takers, B13, Street Hunters, City Manjje, 72 Evils, ne Virgin Hunters. Kigambibwa nti abayizi bano baawandiika amannya g’obubinja mwe bagwa ku bisenge by’omu
bibiina mwe basomera, mu biyigo ne mu kaabuyonjo, mu masomero ag’enjawulo.

 

Agamu ku masomero abeebyokwerinda ge basinze okuteekako ennyo essira kuliko erya; Mbale Secondary School, Nkoma SS, Mbale Progressive SS, University Link, St. Mary’s College wamu ne Bugisu High school.