Salim Saleh alabudde abawagizi ba Gen. Muhoozi abeeswanta entebe y'Obwapulezidenti

MUNNAMAGYE Gen. Salim Saleh alabudde abamu ku bawagizi ba NRM obutassaawo mbeera ya kuwagaawaga Gen. Muhoozi Kainerugaba ku nsonga z’okwesimbawo ku bwapulezidenti.

Salim Saleh alabudde abawagizi ba Gen. Muhoozi abeeswanta entebe y'Obwapulezidenti
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Gen. Saleh, nga muto wa Pulezidenti Museveni yasinzidde ku kabaga k’okumalako omwaka ku kitebe kya disitulikiti y’e Nakaseke e Butalangu n’agamba nti NRM yassaawo dda emitendera emituufu egimanyiddwa omuntu ayagala obukulembeze gy’ayitamu omuli olukiiko lwa CEC nga gino gye girina okugobererwa ng’ekiseera kituuse sso si ebigenda mu maaso omuli okuwagaawaga okugenderera okubakoonaganya.

Kino kyaddiridde ssentebe wa disitulikiti eno, Ignatius Kkoomu Kiwanuka okusaba Gen. Saleh okutangaaza ebiriwo wakati wa taata n’omwana bamanye ekituufu ekiriwo.

Kkoomu yagambye nti n’abamu ku bakiise ba disitulikiti ensonga eno ebaawudde ng’abamu batembeeta Gen Muhoozi ate abalala Gen. Museveni nga n’emijoozi bagyenaanika.

Abakulembeze b’e Nakaseke ku kabaga kano, baasiimye Gen. Saleh olw’ebirungi by’akoledde ekitundu.

Salim Saleh yeebazizza ab’e Nakaseke okumusiima n’agamba nti guno gwe mulundi ogusoose okumujjukira n’okumusiima mu myaka 25 gy’amaze e Nakaseke.

“Abasinga beemalira ku kunvuma nti ndi mubbi wa ttaka naye nga n’ettaka lye bannangira e Kapeeka naligula ku mubbi eyabba banne,” Gen Saleh bwe yagambye.

Abalala abaasiimiddwa mulimu eyali onubaka wa Nakaseke North Hajat Syda Namirembe Bbumba, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine n’abalala.

Omubaka omukazi owa Nakaseke, Sarah Najjuma, owa Nakaseke North Enock Nyongore nabo beetabye ku mukolo.