Kurakhove, Ukraine
RUSSIA yeewaanye nti ewambye ekibuga ky’amakolero ekirala e Ukraine ne kyongera ku buwanguzi bw’ezze etuukako mu wiiki eziyise.
Minisitule y’ebyokwerinda munda mu Russia ku Mmande erangiridde nti ewambye ekibuga Kurakhove ekisangibwa mu Buvanjuba bwa Ukraine nga babadde bamaze wiiki eziwera nga balwana bwezizingirire okukiwamba.
Mu kiseera kino, enjuyi zombi zirwana bwezizingirire okwenyweza naddala ng’olwa January 20, 2025 terunnatuuka olusuubirwako Pulezidenti wa America omulonde Donald Trump okulayira.
Kinajjukirwa nti Trump yasuubiza nti w’atuulira mu ntebe agenda kulaba nga America etuuza Russia ne Ukraine bakutule ddiiru ey’okukomya olutalo nga Russia esigaza ebitundu bya Ukraine byonna bye yawamba.
Ebitundu bya Ukraine ebyawambibwa Russia okuva olutalo luno lwe lwatandika kuliko: Donetsk, Kherson, Luhansk n’eky’e Zaporizhzhia.