BA ddereeva ba takisi n’abakulembeze baabwe eggulo bakedde kugenda kutwala kiwandiiko kyabwe ku kitebbe kya minisitule y’e by’e nguudo ne ntambula nga basaba etteeka eppya omuli engaasi n’ebibonerezo ebikambwe bisooke biyimirire.
“Tuzze wano mu bulungi nga bannayuganda bonna abakeera okunoonyeza abaana baabwe eky’okulya abatayinza kukkiriza abantu ab’olubattu abali wano mu Uganda abeerimbika mu kubonereza abavuzi b’ebiduuka abakozesa obubi enguudo so nga baagala kutuukiriza bigendererwa byabwe” Ba ddereeva abaabadde batasalikaako musale bwe bategeezezza kamisona avunaanyizibwa okulunganya ebye ntambula Winstone Katushabe.
Abakulembeze ba Taxi nga batuuka ku office za mistry y'ebyentambula
Bano baabadde bakulembeddwamu ssentebe waabwe Rashid Ssekindi akulira UTOF omukaago ogugatta ebibiina bya takisi byonna ssaako n’omumyuka we Musitah Mayambala.
Ssekindi yategeezezza Katushabe nti baagala abeere mwenkanya nga awuliriza ensonga zabwe zebazze okumutegezza kubanga ne wankubadde enteeka balireeta kumalawo bubenje ne balagira ebifo byonna omuli obubuga, amasinzizzo, amassomero n’amalwaliro nti wonna balina kuvugiraawo sipiisi ezitasukka 30 tekigenda kusoboka.
“Gavumenti bw’ebeera nga kituufu erumirirwa bannayuganda, oyinza okugamba nti omugoba w’e kiduuka yenna okuva e Kampala okutuuka e Ntebbe wonna olina kuvugirawo sipiidi 30, olwo oba onatuuka ddi?” Ssekindi bweyategezezz
Yagambye nti oyinza okwewunya ebipapula ebitukubibwa ebya kkammera z’oku kuubo bulijjo tubagamba nti ddiiru erimu aba Russia abakola nnamba puleeti za digito empya ze bateeka kati ku biduuka nga bawakana kati wano baagalawo ki? Ffe aba takisi twazze kuno kuwaaba nsonga zaffe.
“Tulina obukakkafu nti ssente zonna ezitukubibwa mu bipapula bya kkamera za poliisi ebitundu 80 ku buli 100 zigenda muba Russia, ekitongole ky’omusolo ne kifunaako ebitundu 20 ku 100 ekiraaga nti waliwo abanenne abali mu ddiiru eno okunyigiriza bannayuganda” Ba ddereeva bwe bategezezza.
Gad Mugisha akulira ekibiina ekigatta banannyini takisi mu ggwanga ekya COTDA yagambye nti alina mmotoka ye, eya nnamba UBC989B bakagikuba ebipapula 52, nga bikola obukadde 6,960,0000/- kati abuuza mmotoka agitunde asasule gavumenti oba agipakinge.
Steven Kidde, akulira siteegi y’e Ntebbe mu ppaaka enkadde yategezezza nti alina ddereeva akoleera ku siteegi ye bakamukuba ebipapula 18, mu nnaku bbiri zokka nga kuliiko eby’emitwalo 600,000/- kkuumi nabittaano biramba[15] kyokka nga bamuvunaana omusango gw’okuvuga sipiidi kyokka nga tavugangako kusukka sipiidi 40.
Yagambye nti ekisinga okubaluma e Katabi awali kammera ebakuba ebipapula waliwo akapande ka UNRA , kalagira kuvugirwo sipiidi 60, kyokka n’abayitawo nga bavuga sipiidi 40, kkamera ebakuba ebipapula.
Musitah Mayambala yasabye kammisona Katushabe nti bayimirize mu tteeka lino basooke batule bonna balabe ekirina okukolebwa omuli okukendeza ku bibonerezo.
Okukendeza ku ssente z’e ngaasi , okussa obupande bwa sipiidi ku nguudo zonna, okusooka okusomesa abagoba b’ebiduuka amateeka kye gateegeza n’okumanya wa awava obuzibu nga temuli bantu balubatu kunoonya kwekusa mbuto zabwe.
“Wabula ssebo kino bwekigaana bwetuva wano ku Mmande ya wiiki eggya tugenda kupakinga mmotoka zaffe zonna kubanga ne bwetukola tetulina kyetufunamu okugyako okwekubya ebipapula” Mayambala bweyategezezza.
Aba Taxi nga batuuka ku office ya ministry y'ebyentambula
Kyokka Katushabe yalagidde SP / Steven Sunday owa poliisi y’ebiduuka okugenda ne ba ddereeva mu kkamera alabe ebimu ku bibonerezo ebyabawereddwa omuli n’oyo agamba nti bamukubye ekipapula nga bamuvunaana omusango gw’okubeera nga yabadde tayambadde elementi kyokka nga elementi erina kwambalwa ba bboda boda.
Ensonga ekika kino tezetaaga nakunoonya minisita ezo zimale kyokka nategeeza aba takisi nti ensonga zabwe zonna aziwulidde era aziwandiise wansi kati agenda zitegezza minisita kubanga talina buyinza buyimiriza tteeka.
Kino kyatabudde aba takisi ne basituuka mu lukiiko ne bamuviira nasiggala nga awotosse era ne bamularira nti balinde ku Mmmande bwe banalaba takisi zabwe ku luguudo lwonna nga basiiru.
Aba takisi bagamba nti mu gavumenti mulimu abalwanyisa Museveni kubanga buli lwabeera nga anajja mu Kampala bateekawo okunyigiriza abantu ba bulijjo basobole okumukyawa kubanga abadde anatera okujja naffe okutulambulako nga bwaze akola ebitundu bye ggwanga ebirala kati baleese katemba wabwe.
“Mu mmotoka zonna zetuvuga ku bisaawa byazo tekuli kalaaga sipiidi 30, zitandiikira ku 10, 20, 40, 60, 80,100, 120, ne 140. Kati mutusubira nti tetugenda kutomera bantu nga tunoonya ekisaawa okulaba sipiidi 30 gattako obuttemu olwa jaamu mu kibuga” Ssekindi bweyategezezza