PUTIN akalubizza embeera y’okukomya olutalo lwa Ukraine bw’ayongedde obukwakkulizo ku by’okuteesa luggwe nga bwe yasabiddwa Trump, ne bijulira Paapa.
Pulezidenti wa America, Donald Trump eyeeyama okukomya olutalo olwo bwe
yali anoonya akalulu, akoze bingi luggwe ng’ekikyasembyeyo kwe kuddamu
okwogera ne Vladimir Putin wa Russia ku Mmande, akkirize okuteesa n’owa
Ukraine, Volodymyr Zelenskyy awatali kakwakkulizo.
Eby’embi, Putin talina kye yaakyusizza. Mu bukwakkulizo mulimu Gavumenti ya Zelenskyy okuva mu buyinza ng’okuteesa tekunnabaawo kuba Putin agamba nti eriwo mu bukyamu okuva okulonda lwe kutaaliwo nga Ukraine ekozesa etteeka erigigaana okulonda ng’eri mu lutalo.
Putin era ayagala Ukraine ekkirize amasaza okuli Luhansk, Donetsk, Kherson, Zaporizhzhia n’ekizinga kya Crimea kyeyawamba mu 2014, bitwalibwe Russia.
Byonna Ukraine yabigaana awo Putin n’agamba zivuge kuba ebyo ng’ogasseeko
n’ekyeggwanga eryo okuliremesa okwegatta ku mukago gwa NATO, bye byamuviirako
okulagira amagye ge okulumba Ukraine mu 2022.
Okusinziira ku mawulire ga BBC,Trump yagambye nti, ye ky’akoze akikoze
kyokka bwe biba bigaanyi, Paapa Leo XIV naye asobola okugattako olutalo olumalawo abantu mu Ukraine lukome. Gye buvuddeko Paapa Leo XIV yategeeza bw’ali
bulindaala okukwataganya enteeseganya okukomya olutalo olwo bwe kinaaba kye kyetaagisizza okuzza emirembe mu nsi. Kyokka Vatican yalaze nti tennakolayo nteekateeka yonna ya kukwataganya nteeseganya wakati w’amawanga gombi. Wano Katikkiro wa Italy omuggya Giorgia Meloni we yagambidde nti, Gavumenti ye nneetegefu okuyamba ku Vatican ku kirowoozo kya Trump eky’enteeseganya olutalo luggwe. Vatican, Paapa gy’akulembera, eri wakati mu kibuga kya Italy ekilulu, Roma nga kizibu Vatican okukwataganya enteseeganya ezo nga Italy tekiriimu. Enteeseganya ezaabaddewo wiiki ewedde, Ukraine yayungudde ekibinja ekinene ekyatuuse mu Turkey nga kikulembeddwa Zelenskyy n’abanene mu Gavumenti ye kyokka Putin eyasaba ezo
zibeewo n’asalawo ne gye zinaatuula.
Ekikulu ekyavaayo mpozzi kwe kukkaanya amawanga abiri buli limu liweeyo abajaasi 1,000 abaawambibwa mu lutalo era ekyo baakitandise.