RDC Mbabazi ayimirizza abakuba bbulooka ku ttaka erikaayanirwa e Kawanda
OMUBAKA wa Pulezidenti atuula e Wakiso Justine Mbabazi ayimirizza abakuba bbulooka ku ttaka erikaayanirwa ku kyalo ky'e Nakyesanja e Kawanda mu ggombolola y'e Nabweru mu disitulikiti y'e Wakiso.
RDC Mbabazi ayimirizza abakuba bbulooka ku ttaka erikaayanirwa e Kawanda
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision
Ettaka lino liweza obugazi bwa yiika nga limaze ebbanga nga likaayanirwa Hajati Hadijah Musuuna ne bba Jamada Musuuna nga bano balumirizza Sam Kamoga ne mukyala we Racheal Mbabazi okwesenza ku ttaka lyabwe.
Embeera eno y'ewalirizza RDC w'e Wakiso Justine Mbabazi saako n'omumyuka we ow'e Kasangati Moses Jjemba okuyingira mu nsonga zino okulaba nga bamalawo obutakkaanya obuli wakati w'abantu bano.
Haji Jamada Musuuna ategeezezza nga Kamoga bwe yeesenza ku ttaka kyokka kkooti bwe yalagira obutabaako kyonna kikolebwa ku ttaka ate yagenda mu maaso n'okusima ebinnya mu ttaka lye nga aggyamu bbulooka era n'aguza n'abantu abalala ekintu Haji Musuuna ne mukyala we Hadijah Musuuna kye bawakanya nga bagamba nti ettaka lyabwe balyonoona.
Kyokka ye Kamoga yategeezezza nti ettaka lino kwebali lya Gavumenti nga nabo tebakkirizza nti ettaka lya Musuuna wadde nga ensonga zino zikyali mu kooti.
Wano RDC Mbabazi w'asinzidde n'ayimiriza bonna abakuba bbulooka ku ttaka lino okukikomya okutuusaka nga kooti esazeewo eggoye kw'ani nnannyini ttaka omutuu era n'alabula nti abanasangibwa nga balisaalimbirako baakukwatibwa bavunaanibwe n'abasaba buli ludda okubeera olukkakkamu.