Pulezidenti Museveni asuze ku kisaawe Kololo ng'ali mu kutawuluza ntalo wakati wa baabadde besimbyewo ku kifo ky'obumyuka bwa ssentebe wa NRM okukikkirira ebitundu eby'enjawulo ku kuliiko lwa CEC.
Embiranyi okusinga yabadde wakati wabasimbyewo ku kifo Ky'omumyuka wa ssentebe wa NRM ku kuliiko lwa CEC okuva mu Buganda wakati wa Haruna Kasolo Kyeyune minisita wa 'Microfinance' ne Moses Karangwa ssentebe wa NRM mu disitulikiti y'e Kayunga.
Karangwa yalabye bamulibubi nga agamba nti Kasolo yabadde amubba akalulu natuumira Museveni abantu basattu ajje amutaase kubanga yabadde atudde wala kyokka bweyalabye tafuddeyo ne yesulamu eddalu ku ssaawa nga 7:30 ogw'e kiro n'bukira akazindaalo nalekaanira waggulu nti Pulezidenti banziba akalulu kyokka abajaasi ba SFC ne bamutwala nga na bugi simufungize ne bamuggya ku kazibdaalo.
Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k'eby'okulonda mu NRM keyabadde akozesa okulangirira abawangudde ekyamuwaliriza Museveni okujja okulaba ogubadde we baabadde bakubira akalulu
Oluvannyuma embeera yazze mu nteeko Kyokka ne bwekyatusse ku Dr Chris Baryonunsi nga alaba Jonard Asiimwe Akiiki amutwala nasaba akazindaalo ka Tanga abuulire Pulezidenti nga bwe bamubba nga alumiriza Asiimwe okubeera abantu ab'enjawulo abatali balonzi mu layini era n'ateegeza Museveni nga bwatajja kukkiriza ebinaava mu kulonda Museveni n'asembeera ku muzindaalo obwedda kwayogerera emisaana n'amugamba balonde okukakkana nga Asiimwe amumezze.
Museveni yavudde ku kisaawe e Kololo ku ssaawa 10:14 nga bukya oluvannyuma lwa Dr Tanga okumala okulangira ebifo byonna. Okuggyako ekya bavubuka (youth) n'abasuubuzi (Entrepreneur League) ebyajjulidde okusalawo lwe ddi lwe binaddamu okulondebwa.
Wabula yagambye nti bwenakizuula nga wabaddewo okubbira okuabadde mu kalulu kano ajja kulaba ekiddako.
Abalala abawangudde eky'omumyuka bwa ssentebe kuliiko lwa CEC kuliiko Salim Uhuru yawangudde Kampala ate Denis Obua yawangudde ekitundu kya mambuka 'Northrn Region's