Pulezidenti Museveni akyagenda mu maaso n'okulambula abaganyuddwa mu za PDM

Pulezidenti Museveni ayingidde olunaku olw'okusatu ng'alambula abantu ab'enjawulo abaganyuddwa munkola ya PDM mu disitulikiti ye Wakiso. 

Omukyala ng'annyonnyola
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

Pulezidenti Museveni ayingidde olunaku olw'okusatu ng'alambula abantu ab'enjawulo abaganyuddwa munkola ya PDM mu disitulikiti ye Wakiso. 

Leero Pulezidenti Museveni agenda kukyalirako omulimi Jackline Rwabukurukuru ku kyalo Zziba mu Kasanje Town Council ng'ono alima amatooke, okulunda enkolo, okulunda ente, okulunda eby'ennyanja nebirara.

Pd 3

Pd 3

Rwabukurukuru yategeezezza Bukedde nti alina ente 7 zalunda nga buli lunaku akama liita 45 ez'amata.

Yagambye nti buli wiiki ayunja amatooke enkota 45 mu lusuku lweyalima ku yiika 8.
Ku nkoko, Rwabukurukuru yagambye nti alunda enkoko ezikulira mu wiiki 3 era nga zino azitunda nayongera ku nnyingiza mumaka.

Yagambye nti ebyennyanja bavubamu emirundi 2 mu April ne September nga bavubamu ebyennyanja ebiwera emitwalo 2 n'ekitundu era kkilo agitunda 8000/=.

Yebazizza Pulezidenti Museveni olw'okureeta pulojekiti ezikulakulanya zagamba nti zimuyambhe nnyo okugaziwa nga kati aweza yiika 45 okuva ku 4 zeyalina. 

Yategezezza nti pulojekiti zino zimuyambye nnyo okulabirira abaana be ssaako n'okwongeza ku nfuna ye era nga kati takyabalibwa mu baavu kuba ayingiza ssente buli lukya