OMUSAJJA agambibwa okuba nti aludde ng'atigomya abasuubuzi n'abatuuze b'e Kajjansi mu kubabbirako amasimu ku pikipiki ,akwatiddwa.
Yasin Kizito, amanyiddwa nga Mr. Kampala, abadde yaakava mu kkomera e Kigo, gy'amaze emyaka ebiri olw'emisango gye gimu egy'obubbi, gwe bazzeemu okukwata ku by'okubba amasimu.
Ppiki gye baamukutte nayo.
Kiddiridde omukyala Pearl Ayebale, ababbi babiri nga batambulira ku pikipiki, okumunyagako essimu bwe yabadde agenda okukola ku Lwokubiri era n'aggulawo omusango ku poliisi ya Akright .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti , basobodde okumulondoola era ne bakizuula nga Kizito y'omu ku abo, nga n'abalala, babayigga.
Ono akwatiddwa ne pikipiki esuubirwa okuba nga gy'abadde yeeyambisa mu bunyazi buno.